Omugenzi Godfrey Wayengera yatemuddwa mu bukambwe mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga June 10 omulambo gwe ne gusuulibwa e Namubira okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka.

Benjamin Gidudu mutabani wa Godfrey Wayengera eyattiddwa abazigu ab’emmundu abaabadde mu byambalo ebyefaananyiriza eby’amagye akaabizza abakungubazi bw’alemereddwa okwogera n’atulika butulisi n’akaaba.
Gidudu abadde addiridde mukulu we, Elizabeth Wayengera ng’ono ye asobodde okwogera n’obuvumu kyokka ye musajja wattu ne bigaana.
Mu bbanga lya ddakiika nga 15 nga bamulekedde akazindaalo oluvannyuma akakwatiddwa taatawe omuto, Ven. Charles Wayengera, asobodde kweyanjula oluvannyuma n’ayogera ebigambo bibiri by’addinganye nti “I will make you proud daddy” nga bw’akaaba, ebitegeeza nti taata nja kukuweesa ekitiibwa.

Abakungubazi nabo amaziga gaatandise okubattulukuka era ne batandika okujjayo obutambaala nga bwe beesiimuula mu maaso olw’ennyiike.
Bino bibadde mu kusaba mu kkanisa ya Bishop James Hannington Church of Uganda e Nsuube omugenzi gy’abadde omukubiriza w’Abakulisitaayo. Okusaba kuno kusombodde nnamungi w’omuntu.

Omugenzi Godfrey Wayengera yatemuddwa mu bukambwe mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri lwa wiiki eno nga June 10 omulambo gwe ne gusuulibwa e Namubira okumpi n’oluguudo lw’eggaali y’omukka.
Wayengera era abadde omu ku bakulu mu kitongole ekirabirira abaana ekya Compassion International Uganda ssaako okuba omutandisi w’essomero lya Beloved Day care and Nursery School erisangibwa e Nsuube ng’era abadde munna Lotale.

Mu kkanisa, mukyala w’omugenzi, Miriam Wayengera, abaana boogeddeko eri abakungubazi ng’omuwala omukulu, Elizabeth Wayengera attottodde omukwano kitaawe gw’abadde alina gye bali.
Agambye nti mu mbeera ng’abayizi batya nnyo bazadde baabwe era nga waliwo oluwonko wakati baabwe, kitaabwe tabadde bw’atyo.
“Ku yunivasite, Daddy ng’anvuga n’antwala ‘out’ ate n’annona n’anziza ku ‘Hostel’ era abaana nga beewuunya nnyo olw’embeeera yo,” Elizabeth bwe yategeezezza. Ono ategeezezza nti abasse kitaawe mu bukambwe abasonyiye.

Wayengera poliisi yategeeza nti yagwa mu batemu okwali n’ow’emmujndu nga bayambadde ebyambalo ebyefaanaanyiriza eby’amagye ng’ono mu mmotoka yalimu n’omukyala gwe yali aggye e Mbale ng’amuleese okusomesa ku ssomero lye ng’ono bwe baamala okutta mukamaawe, ye ne bamuvuga mu mmotoka ekika kya Fielder ne bagenda bamusuula e Jinja-Misindye mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono.
Ye mukyala w’omugenzi, Miriam Wayengere asabye abantu okuli n’abatemu abasse bba okulokoka bade eri omukama n’agamba nti ye yagumye kuba alina Yesu.

Ategeezezza nti olunaku lwe yattibwa, nenkeera ku Lwokusatu lwe yali alina okumutwala mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi bwa kkansa w’ebbeere bw’afuna buli wiiki.
“Tekikkirizibwa, kati mpitibwa nnamwandu! Naye ndi mugumu, kirungi nti tuwangadde ne Godfrey mu mukwano ogwa nnamaddala ewatali nkenyera yonna, teri wadde olunaku n’olumu lwe yanneemulugunyaako ate nange bwentyo. Omwaka oguwedde twakuza emyaka 21 gye tumaze mu bufumbo,” bwe yategeezezza.

Ate akulira ekibiina ky’abaami abafumbo ekya Mothers Union, Jonathan Mawanda atenderezza Wayengera ng’abadde omukubiriza ow’eby’okulabirako ng’abaami abalaga ekifaananyi ekituufu omusajja bw’alina okuyisa n’okwagala mukaziwe.
Ate mukulu w’omugenzi, Ven. Charles Wayengere, agambye nti omukyala eyabadde ne muto we we baagwiridde mu batemu babadde tebalina kakwate konna nga yabadde amuggye Mbale gye yali agenze okuziika ng’amuleese okusomesa mu ssomero lyabwe.

Ven. Canon Samuel Kyaterekera Wasswa alangidde abatemu b’agambye nti bayinza n’okuba nga mu kusaba baabaddewo n’agamba nti bino bye bakola nabo bajja kubibakola. Asabye n’abakulembeze abeenyigira mu bikolwa eby’okutugunya abantu okwekomako n’agamba nti si be basoose mu bifo ebyo mwe bali.
Omubuulizi omukulu abadde Ssaabadinkoni w’e Seeta, Canon Edward Kironde Balamaze ng’ono ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde n’omukwano gw’abaana abatali babe bokka naye ab’eggwanga n’asaba abo abatulugunya abaana okweddako.

