Bakaluba ng'asika mu mukono gwa Dr. Kibuule (ku kkono), ssentebe wa Mukono District Service Commission lwe baayingira mu woofiisi.

Bakaluba Ayimirizza Akakiiko Akagaba Emirimu – Birimu Okutunda Emirimu

1 minute, 13 seconds Read

Bakaluba w’aviiriddeyo nga n’omwaka akakiiko kano tekannaguweza mu woofiisi oluvannyuma lw’okusakasibwa mu mwezi gwa August omwaka oguwedde ogwa 2024.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa akawangamudde bw’ayimirizza akakiiko akagaba emirimu aka District Service Commission mbagirawo.

Bakaluba agamba nti ng’entabwe eva ku bigambibwa nti abakatuula ku kakiiko kano babadde beefudde mmo mu kutunda emirimu n’okusaba ensimbi abazze basaba emirimu.

Ssentebe w’aviiriddeyo nga n’omwaka akakiiko kano tekannaguweza mu woofiisi oluvannyuma lw’okusakasibwa mu mwezi gwa August omwaka oguwedde ogwa 2024.

Kitalo! Abalwadde mu Ddwaliro e Buvuma Bagabana Ebisenge N’emirambo!!!

Bakaluba okuyimiriza akakiiko kano abadde ayogera oluvannyuma lw’emmisaetegekeddwa ku munisipaali y’e Mukono leero nga Bwanamukulu w’ekigo ky’e Mpigi, Rev. Fr. Deogratias Kiibi y’abadde omutambizi omukulu.

Akakiiko ka Mukono District Service Commission kakulemberwa ssentebe, Eng. Dr. Godfrey Kibuuka Kisuule nga kalina bammemba okuli; Arthur Blick Mugerwa ng’ono y’akiikirira abaliko obulemu, Idris Ssemakula, Stella Margaret Kiondo ne Lydia Nakachwa.

Oluvannyuma lw’okukola okulangirira ng’akakiiko bw’akayimirizza ebbanga eritali ggere, Bakaluba ayise abantu bonna abalina obujulizi ng’abakulu ku kakiiko baabaggyako enguzi okuli abaasasula obukadde obuli eyo mu 10, 20, 30, ne 35 bagende batwale obujulizi olwo abakulu basobole okubakolako ng’amateeka bwe galagirwa.

Olumaze okwogera bino, Bakaluba avuze n’adda ku disitulikiti ng’eno abadde ky’aggye ayingire woofiisi ssentebe wa DSC, Ying. Kibuuka n’ayingira ne beesogga akafubo nga n’amyuka ssentebe wa disitulikiti Jerom Kabali naye abadde mu kafubo.

Two Arrested in Connection to Entebbe Couple’s Murder

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!