Wesonga agambye nti ebyuuma bi kalimagezi 89 bye bigenda okukozesebwa mu Mukono, nga bwe binaava mu magombolola ag’ebibuga olwo bitwalibwe mu g’ebyalo.
Okusinsiira ku kawaayiro 332 ak’etteeka erifuga okuwandiisibwa kw’abantu mu ggwanga, ekitongole ekikola ku kuwandiika abantu, okugaba endagamuntu n’okuzizza obuggya ekya NIRA kitongozza okuzza obuggya endagamuntu mu distulikiti y’e Mukono, nga kitandikira mu magombolola okuli Kyampisi, Nama, Nakisunga ne munisipaali y’e Mukono ng‘enteekateeka eno ebadde mu ofiisi y’omubaka wa gavumenti e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka.
Okusinziira kw’akulira NIRA mu Mukono, Edwin Wesonga, mu ntegeka ey’okukulungula emyezi 6, endagamuntu enkadde zigenda kusikizibwa empya ezitaggwako ate nga za bwereere, wamu n’okuwa Bannayuganda abakuze endagamuntu empya, nga kwekuli abawezezza emyaka 18 wamu n’abo abaabulwako ezaabwe.
Abo abaabulwaako ezaabwe, Wesonga abawadde amagezi okuloopa ku poliisi kisobozese ab’eby’okwerinda okutangira abamenyi b’amateeka okuzikozesa mu bikolwa ebikontana n’amateeka, n’awa amagezi abazisinga mu bawozi b’ensimbi okuzibajjako mbagirawo nti kubanga kimenya mateeka abawola ensimbi okujja endagamuntu ku bannyinizo kubanga za gavumenti so si muntu ssekinnoomu.

Wesonga alabudde abeesuulirayo ogwa nnaggamba ku kwewandiisa okufuna endagamuntu, n’abagamba nti n’abawere abakazaalibwa ba kuwandiisibwa kubanga tebagenda kuweebwa bbaluwa za buzaale nga tebalina nnamba ezimanyiddwa nga NIN, nti era eyo y’ensonga lwaki bassa abakozi baabwe ku malwaaliro okuli erya Mukono General Hospital, Mukono Church of Uganda ne St. Francis Hospital e Naggalama.
Ono era awadde amagezi abasobola okukozesa emikutu emigatta bantu okukola okusaba kwabwe ku byuuma bi kalimagezi okuyita ku kibanja kyaawe ekya www.nira@go.ug oluvanyuma bagenda awawandiisibwa n’okuzza obuggya endagamuntu ng’ebibakwatako baamala dda okubijjuza kibanguyire nga babakuba bukubi bifaananyi n’okubaggyako ebinkumu mpozzi n’emmunye z’amaaso.
Wesonga agambye nti ebyuuma bi kalimagezi 89 bye bigenda okukozesebwa mu Mukono, nga bwe binaava mu magombolola ag’ebibuga olwo bitwalibwe mu g’ebyalo.
Nalukoola Appeals Court Ruling Nullifying His Election as Kawempe North MP
Omubaka wa gavumenti e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka akubidde Bannamukono omulanga babeere eky’okulabirako nga beeyuna ebifo awawandiisizibwa n’okuzza obuggya endagamuntu.
Ndisaba asaabuludde ebyogerwa abantu nti gavumenti erina ekigendererwa eky’okukozesa endagamuntu mu kusikiriza Bannayuganda okulonda NRM mu kulonda okujja, n’atangaaza nti abatalina ndagamuntu gye bujja baakusanga obuzibu okwewola ensimbi mu zi bbanka, okufuna paasipoota, okufuna ebifo mu masomero, n’eby’etaago ebirala njolo.
Abo abaawaayo endagamuntu zaabwe mu bawozi b’ensimbi, Ndisaba abawadde amagezi okuzibasaba mbagirawo, n’akikkatiriza nti bwe baziremera, batwale ensonga ku poliisi oba mu ofiisi ye, kuba endagamuntu mmaali ya gavumenti nga teri muntu akkirizibwa kuzikozesa nga musingo okwewola ensimbi.

Ku ky’abagwiira, RDC Ndisaba agambye nti abaafuuka Bannayuganda okuyita mu mateeka ba ddembe okufuna endagamuntu wamu n’okwetaba mu nkulakulana endala yonna eganyulwa Bannayuganda abalala.
Ye kkansala ku ggombolola y’e Kyampisi, Margaret Nassuuna Genza ssaako Ssalongo Lawrence Mawejje, ssentebe w’omukula gw’e Kabembe nabo baanirizza enteekateeka eno nga ne kye basinze okusanyukira kwe kuba nti ku mulundi guno endagamuntu zino teziriiko bbanga ggere okuggwako kiyite expiry date.
