“Kya nnaku nnyo nti bannaffe bano bbo tebaatunuulidde kutwala mu maaso kibiina, baalimiridde n’okugulirira ne basuula ate bakkansala abandibadde ab’amaanyi, olwo ne baddira kkaadi za NUP ne ziweebwa abantu ab’ekibogwe. Kino kikyamu!” Nambooze bwe yategeezezza.
Munna NUP Kyembuga Florence K’abala ku Munna NRM Haji Ssemakula Kaliibwa!
Oluvanyuma lwa kkaadi za NUP okujjamu emigozoobano, bangi ku ba ffa nfe b’omubaka wa palamenti ow’ekibiga ky’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke bamale babamme kkaadi ekyamuviiriddeko n’okubakumamu omuliro n’abasaba abasobola beesimbewo nga tebalina kibiina, olwa leero, ‘bodyguard’ wa Nambooze, Yeeko Saasira abasinga gwe bamanyi nga Saasi atadde mu nkola okuduumira kwa mukamaawe.
Nambooze ng’ayita mu ddoboozi lye yatadde ku gumu ku mikutu gya WhatsApp mu Mukono, yategeezezza nti kkaadi za NUP zaabadde za kugula, ye ky’ataamanya, ng’era yalumirizza omubaka wa palamenti omukyala owa disitulikiti y’e Mukono, Hanifah Nabukeera nti ono ng’ali wamu ne ssentebe wa Mukono Central divizoni, Robert Peter Kabanda nti baakoze kinene nnyo okulwana okulaba nga bakkansala bonna abaabadde mu nkambi ye (Nambooze) n’abakulembeze ku mitendera emirala bammibwa kkaadi.

Mu bamu ku bakkansala n’abakulembeze abalala abammiddwa kkaadi n’abakulembeze abalala ng’ogyeko Saasi, mulimu Geoffrey Kiwasuzi abasinga gwe bamanyi nga Geoff ng’ono mutabani wa Nambooze nga yabadde avuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa Mukono Central Divizoni, Erisa Mukasa Nkoyoyo ng’ono ye meeya wa munisipaali y’e Mukono eyabadde ayagala okuddamu okukwatira ekibiina bendera ku kibiina kye kimu naye yasuuliddwa kkaadi n’eweebwa Kabanda, Annet Nafuna, Tonny Bwanika nga sipiika w’e Goma n’abalala.
“Kya nnaku nnyo nti bannaffe bano bbo tebaatunuulidde kutwala mu maaso kibiina, baalimiridde n’okugulirira ne basuula ate bakkansala abandibadde ab’amaanyi, olwo ne baddira kkaadi za NUP ne ziweebwa abantu ab’ekibogwe. Kino kikyamu!” Nambooze bwe yategeezezza.
Yagasseeko nti; “N’olw’ekyo, nze ssaagala muntu yenna aggwemu maanyi, ekisinga obukulu ye People Power, era mukimanye nti NUP kakutu ka People Power, kati oba baabammye kkaadi za NUP, mwesimbewo ku People Power, (nga temulina kibiina).”
Nambooze Advises NUP Flag Rejects to Stand as People Power Candidates
Oluvannyuma lw’okuwuliriza n’okwefumitiriza ku bigambo ebyo, bwatyo Saasi enkoko leero agikutte mumwa, n’agenda yeewandiisa ku bwa nnamunigina, era ono alabika ng’agguliddewo bangi oluggi, oba olw’awo abanditidde okujeemera ekibiina nga beesimbawo wadde tebaaweereddwa kkaadi.
Saasi oluvannyuma lw’okuwandiikibwa ategeezezza nti abadde mu ‘struggle’ mu Mukono okumala ebbanga ddene eriri eyo mu myaka nga 15, ng ana bwe kityo, bw’oba onoonya omuntu omutuufu, alina ne ‘ground’ ate bw’oleka ye, oba ky’okola naye takitegeera.
Saasi awandiikiddwa okuvuganya ku kifo kya kkansala an’akiika ku disitulikiti ng’akiikirira ekitundu kya Anthony-Namumira ne Nsuube-Kauga.
Lukooya, Over 50 Others Nominated for Mukono District Local Gov’t Positions