Oluvannyuma lw’omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja okutaama okukirako enjuki enkubemu ejjinja, n’akaawa okukirako omususa n’agoba omwawule gw’abadde yaakasindika mu busumba bw’e Kitegoba mu busaabadinkoni bw’e Gayaza, Rev. Abel Sserwanja Mereewooma olw’ensonga ezikyatankanibwa, kyaddaaki ye Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ono amuddiddemu nga Kabaka bwe yaddira mu b’obugulu obutono, amusembezza mu bulabirizi bwe.
Amawulire agatannakakasibwa galaga nti Bp. Kagodo asembezza Rev. Mereewooma, omulabirizi Banja gwe yabisibidde ku nnyindo n’amutwala nga teyeesiikidde na kanyeebwa nga kati ono mbu omulabirizi w’e Mukono amusembezze mu woofiisi ye era nti agenda kugira ng’akola ng’omumyuka wa vviika wa Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono.
Wabula ensonda enneekusifu ku kitebe ky’Obulabirizi e Mukono zikakasizza Kyaggwe TV nga Rev. Mereewooma kati bw’abalibwa mu baawule ab’obulabirizi bw’e Mukono ng’eby’okumusamba ng’akapiira by’abaddemu wansi w’obukulembeze bw’omulabirizi Banja byandiba nga bikomye.
Rev. Mereewooma y’abadde omusumba w’ekkanisa ya St. John’s Church of Uganda e Kitegomba mu Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso kyokka ono by’amukalidde ku mimwa, omulabirizi Bbanja abadde yaakamukyusa n’amuzza eno okuva mu busumba bw’e Kireka gy’abadde amaze ebbanga eddene ate bwe yeefukuludde n’amugoba nga ne nnabbugi si mufungize.
Wabula bino olwagudde mu matu g’Abakulisitaayo ne babuuka enswa ne beesala akajegere ne boogerera Bp. Banja ebisongovu olw’okubakyusiza omwawule bbo gwe baagambye nti baabadde bamulabyemu omulamwa nga mu bbanga lya myezi esatu gyokka gy’abadde yaakamala e Kitegoba abadde amaze okutandika ku kuzimba ekkanisa empya n’ennyumba y’omusumba.
Wabula ebyo bano bye baayogedde wadde byabadde bikaawu ng’omususa, omulabirizi Banja byamuyise ku mutwe nga mudarizo era tebyamuyigudde ttama. Abakulitaayo wadde nga nabo baabadde batankana ensonga entuufu eyinza okuba nga ye yaviiriddeko okugobwa kwa Rev. Mereewooma, abamu baategeezezza nti omulabirizi alabika yakizudde nti ebitabo by’omukulu birimu ebituli.
Ate nno kw’eno ensonga ey’ebitabo baategeezezza nti Bp. Banja alabika yeerabidde nti ne Yesu gw’aweereza era gw’akkirizaamu nti teyasoma nga n’olw’ekyo bbo bagamba nti eyo si ye nsonga gye yandisinziddeko okugoba omwawule waabwe. Baasabye omulabirizi okubeera n’omutima ogusonyiwa eby’entalo nti byakuzza emabega obulabirizi!
Omuliro e Namirembe! Bp. Banja Agobye Rev. Mereewooma Abakulisitaayo ne Batabuka!