Kitalo! Omusomesa Afudde Kikutuko!!!

Makerere University Set to Render 500 Non-Teaching Staff Jobless in Restructuring Exercise Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Gombe Secondary School mu Gombe Town Council mu Butambala disitulikiti baaguddemu encukwe omusomesa waabwe bwe yafudde ekibwatukira. Ayub Sseruwagi, omusomesa abadde avunaanyizibwa ku by’emizannyo ku ssomero lya Gombe S.S abadde amanyiddwa ennyo nga Kapi ye yafudde mu ngeri […]

Abakulembeze e Wakiso Baggyeyo Enjala Okwanganga Abaagala Okubba Ettaka Ly’ekibira

Omubaka omukyala owa palamenti akiikirira disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba nti bbo bamaliridde okuddamu okusimba emiti ku kibira kyabwe nga disitulikiti kuba gavumenti emanyi bulungi emitendera gy’erina okuyitamu ssinga ebeera eyagala okutwala ettaka ly’ekibira nga mu nteekateeka eno emitendera egyo teginnagobererwa. MPs Rewarded with sh100m Cash Bonanza BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO […]

Prof. Badru Kateregga Yeekokkola Omukazi Gweyeewasiza-Yankuba Olubale ku Mutwe, Angobye N’awaka

Kyokka Polof. Kateregga yakisimbyeko amannyo nti Nnaalongo yamukuba kata amutte n’alumiriza nti Nnaalongo okutuuka okumutuusaako obulabe, pulaani ye yali yaakumuggyawo amutwaleko yunivasite ye, eya Kampala University esangibwa e Ggaba gye yeetandikirawo emyaka 25, emabega n’atakoma okwo n’amugoba ne mu maka ge kw’okomya amaaso e Buziga. Nnaggagga nnannyini Kampala University, Prof. Alhaj Badru Kateregga ayunguse amaziga ng’anyumiza […]

Munna NUP Sipiika Bwanika Agobye Ab’amawulire mu Kkanso Y’e Goma Ng’eyisa Bajeti

Sipiika Tony Bwanika bw’abadde asindiikiriza bannamawulire okufuluma ekisenge ekiteesezebwamu abategeezezza nti tebaayitiddwa mu lutuula lwa kkanso luno. Abamu ku Bannamawulire abagasakira mu bitundu by’e Mukono balozezza ku bukambwe bw’omukubiriza w’olukiiko lwa Division y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono munnakibbina kya National Unity Platform (NUP) Tony Bwanika bw’abagobye ku kifuba okuva mu lutuula lw’olukiiko (kkanso) luno […]

Poliisi Eyigga Ssaabakristu Asse Mukaziwe Ng’entabwe Eva ku Bwenzi

Poliisi mu bitundu bya Ssezibwa mu disitulikiti y’e Buikwe eri ku muyiggo gw’omusajja eyavudde mu mbeera n’akuba mukaziwe ku mutwe n’amutta. Kigambibwa nti Ronald Bateganya omuvuzi wa ttakisi ng’era ye Ssaabakristu w’ekisomesa ky’e Busagazi mu Buikwe yakwatidde mukaziwe Betty Kagoya mu bwenzi mbu nga yeegadanga n’asikaali wa bbiici yaabwe n’ava mu mbeera. Kagoya nga ye […]

Sipiika owa NUP Agobezza ba Kkansala Obukoofiira bwa NUP mu Kkanso

Eky’okuba munnakibiina kya NUP, Sipiika wa disitulikiti y’e Mukono, Betty Hope Nakasi tekimulobedde kwambalira munnakibiina munne, Bernard Ssempaka akiikirira ab’e Nakifuma mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukono nga n’entabwe kw’eva kwe kugenda mu kkanso ng’ayambadde akakofiira ka NUP akamanyiddwa nga ‘beret’. Ng’akubiriza kkanso, sipiika Nakasi nga naye munnakibiina kya NUP yategeezezza nti kibi nnyo abantu […]

Aba UPDF Okutulugunya Abavubi Kigobye Abakyala mu By’obuvubi

“Emyalo okusigala nga misibe kiwadde ba nnakigwanyizi omwaganya okukamula ensimbi okuva mu bakazi bano abawejjere, ekintu ekibongedde obwavu,” Namugga bwe yagambye. Abakazi abali mu mulimu gw’okuvuba, okusuubula n’okutunda mukene mu distulikiti okuli Wakiso, Mukono ne Kalangala ge bakaaba ge bakomba olw’abasirikale b’eggye lya UPDF abalwanyisa envuba embi ku nnyanja be babagamba nti basusse okubabuzaako emirembe. […]

Temukozesa Ssente Za Kwongera mu Bbizinensi Kujjanjaba Baana Balwadde-RDC

Amyuka omubaka wa gavumenti mu kibuga Mukono, Rodha Tiitwe Kagaaga alabudde abaliko obulemu okukomya okwekubagiza olw’obulemu mwe bali wabula bakozese buli kakisa gavumenti k’ebateereddewo okulwanyisa obwavu. Abo abalabirira abaana abaliko obulemu RDC Kagaaga abawadde amagezi obutakozesa nsimbi zibaweereddwa kukola mirimu ate kuzizza mu kuijjanjaba baana nga tebannaba kuzizazaamu, wabula bamale okuzikozesa emirimu olwo bakozese amagoba […]

RDC Eyeeyisizza Ng’atamidde Awuniikirizza Abatuuze, Ataamidde Aba Prison ne Poliisi 

Omubaka wa Pulezidenti mu distulikiti y’e Rakai yafuuse emboozi era ekisekererwa olw’engeri gye yalabise ng’azze okutawulula abeekalakaasi. Sarah Kiyimba nga ye mubaka wa gavumenti (RDC) e Rakai, yamazeeko abalabi ebyewungula bwe yazze ng’atagala, ng’awunya k’alidde era ng’awoggana mu ngeri eyamulabisizza ng’ekitagasa bwe yabadde ayogera eri abantu abaabadde beekalakaasa n’ab’eby’okwerinda omuli aba poliisi n’abasirikale b’amkomera. Obuzibu […]

error: Content is protected !!