Ensonga Za Rev. Merewooma Zikyalanda: UCU Esazizzaamu Dipulooma Gye Yasomerayo!

Rev. Abel Sserwanja Merewooma abadde omusumba w’obusumba bw’e Kitegoba mu busaabadinkoni bw’e Gayaza eyagobeddwa mu buweereza Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Moses Banja ensonga zongedde okumwonoonekera, ate Yunivasite ya Uganda Christian University (UCU) gye yasomera eby’eddiini nayo bw’emuvuddemu n’esazaamu obuyigirize bwe. Okusinziira ku muwandiisi w’obulabirizi bw’e Namirembe, Rev. Canon Henry Ssegawa, mu bbaluwa egoba Rev. Merewooma […]

Bp. Kagodo Asembezza Rev. Mereewooma Eyagobeddwa e Namirembe!

Oluvannyuma lw’omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja okutaama okukirako enjuki enkubemu ejjinja, n’akaawa okukirako omususa n’agoba omwawule gw’abadde yaakasindika mu busumba bw’e Kitegoba mu busaabadinkoni bw’e Gayaza, Rev. Abel Sserwanja Mereewooma olw’ensonga ezikyatankanibwa, kyaddaaki ye Omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ono amuddiddemu nga Kabaka bwe yaddira mu b’obugulu obutono, amusembezza mu bulabirizi bwe. Amawulire agatannakakasibwa […]

Abakulisitaayo Bajjumbidde Okusaba Kwa Ssekukkulu e Mukono

Abakulisitaayo bajjumbidde okusaba kwa ssekukkulu ku Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono okukulembeddwa omulabirizi Enos Kitto Kagodo. Bp. Kagodo ategeezezza nti kino kiseera kya kwebaza Katonda olw’embeera buli muntu gy’ayitamu omuli abali obulungi ate n’abatali bulungi. Bwatyo, omulabirizi asabye Bannayuganda omuli n’abakulembeze omuli ne Bannabyabufuzi okufuba okukolerera emirembe ate n’okwesiga Katonda Yesu abeere nnamuziga […]

Omuliro e Namirembe! Bp. Banja Agobye Rev. Mereewooma Abakulisitaayo ne Batabuka!

Abakulisitaayo abasabira mu kkanisa ya St. John’s Church of Uganda e Kitegomba mu Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso baabuuse enswa ne beesala akajegere ne boogerera omulabirizi w’e Namirembe, Bp. Moses Banja ebisongovu ng’entabwe eva ku kya Kitaffe mu Katonda kusalawo kugoba musumba waabwe nga tannabugumya na mbooge mu kifo. Rev. Abel Sserwanja Mereewooma yaali wakati […]

Kitalo! Bp. Samuel Balagadde Ssekkadde Afudde!!!

Kitalo! Bp. Samuel Balagadde Ssekkadde Afudde!!! Ekikangabwa kibuutikidde ekkanisa ya Uganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Samuel Balagadde Ssekkadde. Bp. Ssekkadde afudde lwaggulo lwa leero nga October 14, 2024. Kitegereekese nga musajja wa Katonda afiiridde mu ddwaliro e Kisubi. Bp. Ssekkadde yali mulabirizi w’e Namirembe wakati w’omwaka 1994 okutuuka mu 2009.

Mgrs. Kayondo Asabidde Abagenda Okukola Ebya UNEB ku Ssomero lya St. Francis Borgia

Bya Kawere Wilberforce Eklezia katolika yennyamidde olw’obusiwuufu bw’empisa obweyongera mu baana buli lukya. Ng’akulembeddemu mmisa ey’okusabira abayizi abateekebwateekebwa okukola ebigezo eby’akamalirizo okuli aba P.7, S.4 ne S.6 okuva mu masomero ag’enjawulo nga bakungaanidde ku St. Francis Borgia High School e Buguju mu kibuga Mukono, omubeezi w’omusumba atwala essaza ly’e Lugazi, Msgr. Dr. Richard Kayondo asabye abazadde […]

Temwetuulako Ng’ettaka Ly’ekkanisa Libbibwa-Bp. Kagodo

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akunze Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’akulembera okuva mu tulo basitukiremu balwanirire ettaka ly’ekkanisa. Bp. Kagodo agamba nti tekigasa Abakulisitaayo okweyisa ng’Abatuukirivu ng’eno bbo ababbi b’ettaka bwe bamalawo ettaka ly’ekkanisa. Omulabirizi agamba nti okumala ebbanga ddene, ng’ekkanisa babadde beekubira enduulu mu bavunaanyizibwa mu gavumenti okuli okuloopa emisango ku poliisi ng’ebintu […]

Ssaabalabirizi Kazimba Agobezza Abaweereza mu Kkanisa Eby’obufuzi

Ng’eby’obufuzi bizinzeeko buli kimu mu kiseera kino mu ggwanga, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda Dr. Samuel Stephen Kazimba Mugalu ayimirizza abaweereza okuyingiza eby’obufuzi mu kkanisa. Ssaabalabirizi agambye nti ekkanisa ya buli omu nga tesosola mu langi, emmyufu, eya kyenvu, bbulu, kiragala n’endala ng’omuweereza mu kkanisa bw’atandika okusukkulumyako abamu ku bantu ba Katonda olw’eby’ebigendererwa eby’eby’obufuzi, ekyo kiba […]

Abasiraamu Bagabidde Abaliko Obulemu Obugaali Bw’abalema

Abasiraamu ku muzikiti gw’e Ntaawo bagabidde abantu abaliko obulemu obugaali bw’abalema busatu okubayambako ku kizibu ky’entambula. Monica Rwaheeru nga y’asakidde abalema obugaali buno asabye Abasiraamu ne Bannayuganda okwewala okuyisa mu balema amaaso ng’agamba nti bano okufuuka kye bali tebalina musango gwe bazza nti kati bsasula kibonerezo. Bano obugaali bwabakwasiddwa mu kusaala Juma ku muzikiti gwa […]

error: Content is protected !!