Temwetuulako Ng’ettaka Ly’ekkanisa Libbibwa-Bp. Kagodo

2 minutes, 45 seconds Read

Omulabirizi w’obulabirizi bw’e Mukono, Enos Kitto Kagodo akunze Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’akulembera okuva mu tulo basitukiremu balwanirire ettaka ly’ekkanisa.

Bp. Kagodo agamba nti tekigasa Abakulisitaayo okweyisa ng’Abatuukirivu ng’eno bbo ababbi b’ettaka bwe bamalawo ettaka ly’ekkanisa.

Omulabirizi agamba nti okumala ebbanga ddene, ng’ekkanisa babadde beekubira enduulu mu bavunaanyizibwa mu gavumenti okuli okuloopa emisango ku poliisi ng’ebintu by’ekkanisa by’onooneddwa n’abaweereza okutuusibwako obulabe ababbi b’ettaka naye tebannafuna kuyambibwa.

Bp. Kagodo ng’ateekako abaana emikono.

“Eky’akabi bbo ababbi b’ettaka tebatudde. Kumpi buli busumba bwe ngendamu ekisooka ku lipoota abasumba gye bampa bwe bubbi bw’ettaka ly’ekkanisa. Kati eby’okwetuulako byaggwawo, kye kiseera tusitukiremu naffe twerwaneko,” Bp. Kagodo bwe yagambye.

Omulabirizi okwanukula bwati yasinzidde ku lipooti y’Omusumba Dauson Kakooza ow’Obusumba bw’e Buikwe mwe yamutegeerezza ng’amakanisa agasinga mu Busumba buno bwe garemereddwa okwekulaakulanya kubanga tebalina ttaka ssaako okujoogebwa kw’abantu abatali Bakulisitaayo ate okuba nga be baagala okuwa ebiragiro ku ttaka ly’ekkanisa  wadde nga bafubye okulaba ng’abantu bano babalwanyisa.

Omusumba Kakooza wano w’asinzidde n’asaba Omulabirizi Kagodo okuyita mu woofiisi y’eby’ettaka mu Bulabirizi okubalwanirako ku kibba ttaka ekiri mu Busumba buno bwe banaaba ba kubaako ettaka lye batasaawo.

Ng’ayanukula, Bp. Kagodo yagambye; “Wadde nga n’abamu ku baweereza baffe batuusiddwako ebisago okuva mu bantu ababalumba ku ttaka ly’ekkanisa, nga n’emisango tugiwaabye ku poliisi n’egimu giri mu kkooti, tewali kitambula are bbo ababbi b’ettaka bongera kwegiriisa. Ekiseera kigenda kutuuka nga tetukyalina na kye tusobola kukola mu mbeera ya ppulojekiti z’ekkanisa kuba bbo ababbi b’ettaka beesomye, ettaka ly’amakanisa balibba, ery’amasomero balibba, n’amalwaliro. Ye bannange tunakuuma obuntubulamu tunatuusa wa?”

Bp. Kagodo mu kifaananyi n’Ababuulizi abali mu busumba bw’e Buikwe.

Bino byonna byabadde ku kkanisa y’omutukuvu Lukka mu busumba bw’e Buikwe mu busaabadinkoni bw’e Ngogwe mu bulabirizi bw’e Mukono ku Lwomukaaga. Omulabirizi yataddeko abaana 94 emikono.

Omulabirizi era yasinzidde mu kusaba kuno, n’asaba abafumbo okwagalana ennyo ate n’okufaayo ku baana baabwe nga babawa obudde n’eby’etaago n’okubateekamu omuwendo bwe baba baagala okubafunamu mu biseera byabwe eby’omumaaso ng’ate bbo abazadde bakaddiye.

Ye Maama Catherine Kitto nga ye mukyala w’omulabirizi, yakubirizza amakanisa agakyalinawo ettaka okulikozesa nga bateekako ppulojekiti ez’enjawulo ng’erimu ku kkubo ly’okulwanyisa ababbi b’e ttaka.

“Kiyinza obutaba kyangu babbi ba ttaka kusanga kifo muzimbiddwa kizimbe, omusimbiddwa olusuku oba omusiri gw’emmwanyi ne batandika okubba ettaka eryo. Kyokka bwe balaba ettaka okutali kikolebwako ate kibabeerera kyangu. N’olw’ekyo, okukozesa ettaka lyaffe y’emu ku nkola ennyangu ey’okuligobako abanyazi,” bwe yabakuutidde.

Catherine Kagodo, mukyala w’omulabirizi ng’ayogera.

Ye Karungi Caroline eyeegwanyiza ekifo kya ssentebe wa disitulikiti y’e Buikwe naye yasinzidde eno nasibirira abasiddwako emikono entanda y’okwewala okwenyigira mu mize egitaweesa Katonda kitiibwa ng’agamba nti bano oluvannyuma lw’Omulabirizi okubateekako emikono bafuuse baana ba Katonda abajjuvu.

Okusaba kuno kwetabiddwako Rev. Can. Justus Miwanda okuva mu Bulabirizi bw’e Namirembe.

Abamu ku baana abaateekeddwako emikono.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!