Kyagulanyi N’abakulembeze Ba NUP Bakadde Masaka Okulambula ku Eddie Mutwe ne Banne

Yagguddwako emisango mukaaga okuli n’egy’okukuba bannamawulire ssaako okubbisa eryanyi, nga ne bwe kityo, yagattiddwa ku banne abaasooka okukwatibwa mu mbeera ey’okuwambibwa ne bamala ne bavunaanibwa emisango gino era bamaze akaseera akawera ku limandi. NUP Subjects Masaka Journalists to Life Threats Over Detention of Bobi Wine’s Guards Abakulembeze b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) bakedde kubiteekamu […]

Olutalo Lwa Hajji Ssemakula Okusiguukulula Mukamaawe Hajji Ssebaggala-Babiyingizzaamu Emmundu!

Bagamba nti Hajji Ssebaggala y’ali emabega wa kalebule abungeesebwa nti Hajji Ssemakula yasonze emmundu mu Hussein Musambi  omutuuze w’e Kabimbirimu mu ttawuni kkanso y’e Kasawo mbu ng’amulanga okubabega. Sad! Senior Midwife Sarah Katumba is Dead!!! Ng’eggwanga lyolekedde okulonda okumanyiddwa ng’okw’akamyuufu mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, okukuba kampeyini kutabuse okutandikira ku beesimbyewo okuva ku […]

Kawempe North: Obunkenke Mu Kampeyini Za Nalukoola: Abanene ba NUP Baweddeyo

Oluvannyuma lw’akakiiko k’eby’okulonda okuta abeesimbyewo mu kujjuza ekifo ky’omubaka wa palamenti owa Kawempe North okunoonya obuwagizi mu balonzi, Bannakibiina kya NUP wakati mu bunkenke engabo bagirumizza mannyo. Bano nga bakulembeddwamu amyuka pulezidenti w’ekibiina owa Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi, ababaka ba palamenti okuli ow’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke, owa Mukono North, Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni, Francis Zaake […]

Akakiiko K’eddembe Ly’obuntu Kavumiridde Ab’eby’okwerinda Olw’okutulugunya Nalukoola N’okutuusa Obuvune ku W’amawulire Wa Top TV

  Ab’akakiiko akatakabanira okulwanirirra eddembe ly’obuntu mu disitulikiti y’e Wakiso  bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa ebyakoleddwa olunaku lw’eggulo ab’ebitongole by’eby’okwerinda eby’enjawulo kw’omu ku baawandiisiddwa okuvuganya ku kifo ky’okujjuza ekifo ky’omubaka wa palamenti owa Kawempe North Erias Luyimbaazi Nalukoola ne ku w’amawulire wa Top TV Miracle Ibrah. Nalukoola yatulugunyiziddwa ab’eby’okwerinda abaamukubye ne bamwambula oluvannyuma ne bamuwamba ne […]

Munna NUP Bakaluba, Ssentebe W’e Mukono Agobye Abadde Omumyukawe Owa NRM Muwummuza

Munnakibiina kya NUP, ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono akutte ku nkoona abadde omumyukawe okumala ebbanga lya myaka ena, munnakibiina kya NRM, Hajji Asuman Muwummuza n’amusikiza omuntu omulala. Muwummuza gwe twogeddeko naye ku lukomo lw’essimu akakasizza nga mukamaawe bwe yamuwandiikira n’amulagira okumuddiza woofiisiye obutasukka nga February 24, era nti naye kino kye yakoze mu ngeri ya […]

Poliisi Eremesezza Omubaka wa Palamenti ne Banna NUP Okukuba Olukungaana!

BYA ABU BATUUSA | BUSUKUMA | KYAGGWE TV | Poliisi y’e Kasangati ezinzeeko ekifo kya Afro-Taste Garden ekisangibwa e Busukuma mu disitulikiti y’e Wakiso aba NUP mu Nansana munisaali we babadde bategese olukungana n’ebalemesa okuyingira. Poliisi esimbye kabangali yaayo ku ggeeti mu mulyango oguyingira mu kifo kino nga tekomye wano, egaanye n’okutiisatiisa bannanyini kifo kino […]

Omubaka Migadde Ab’e Buvuma Abakutte Abanywezezza; “Obuvunaanyizibwa Bw’omubaka Mbukoze Abalonzi Tebalina Kye Bammanja”

Rev. Kiggundu agamba nti Migadde adduukirira emirimu gy’ekkanisa n’enzikiriza endala kyokka ng’ate ayambye n’okutumbula si byanjigiriza byokka wabula n’eby’obulamu. Omubaka w’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde Ndugwa y’omu ku bavubukma envumuulo ezeesogga palamenti mu mwaka gwa 2011 ng’aweza emyaka 29 gyokka. Migadde yali asikira omubaka William Nsubuga eyali akulungudde mu palamenti emyaka 10 bwe ddu. […]

Bannawakiso Bakyalidde Ssaabasumba Ssemogerere ne Bamusaba Emikisa

Abakulembeze abeegatira mu kibiina kya Tukolerewamu Community Development Agency ekisangibwa mu Busiro South nga bakulembeddwamu sipiika wa disitulikiti y’e Wakiso Nashif Najja baakyaliddeko Ssaabasumba wa Klezia atwala essaza ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogerere mu makka ge e Lubaga ne bamukulisa okuyita mu nnaku z’Amazaalibwa ga Yezu n’okuyita mu mwaka 2024 nga mulamu. Najja nga y’omu […]

Eky’okuggyawo Ekitongole Ky’emmwanyi Ekya UCDA Gov’t Yayagadde Kubonereza Buganda – Katikkiro

  Oluvannyuma lwa palamenti okuyisa ng’eggyawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamya omutindo gw’emmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga kigattibwa ku minisitule y’eby’obulimi, obwakabaka bwa Buganda bubuddeyo ne bulaga okunyolwa olw’ensonga eno. Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde eky’okuggyawo ekitongole ky’emmwanyi ki  UCDA ekyayisiddwa Palamenti olunaku lw’eggulo n’ategeeza nti tewali kubuusabuusa ekyakoleddwa kyakoleddwa kubonereza Baganda. Mu […]

error: Content is protected !!