Dr. Daisy Ssonko (ku ddyo), ku kkono, Andrew Ssenyonga gw'awangudde nga bali ku Youth Centre ku Lwokuna oluvannyuma lw'okulonda.

Dr. Daisy Ssonko Amaze N’alangirirwa ku Buwanguzi e Mukono mu Kamyufu ka NRM

1 minute, 52 seconds Read

Daisy alangiriddwa ku bululu 4,067 n’addirirwa Ssenyonga ku bululu 3,544, Robert Mugabe ku bululu 792 ne Herbert Omoding ku bululu 344.

Olwa Peace Kusasira ne Nakavubu Terunnaggwa, Alangiridde Okuddamu Okwambalagana Naye mu ka Bonna

Kyaddaaki Dr. Daisy Sarah Ssonko Nabatanzi alangiriddwa ku buwanguzi ku kifo ky’anaakwatira NRM bendera mu kuvuganya ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono.

Daisy okulangirirwa ku buwanguzi kiddiridde eyakuliramu okulonda e Mukono, Stephen Nakabaale okulemererwa okulangirira omuwanguzi ensonga ne zijulira abakulu ku kitebe kya NRM e Kyaddondo mu Kampala.

Ono yavuganya ne Andrew Ssenyonga mu kadde kano ali ku kitanda mu ddwaliro e Mengo oluvannyuma lw’okukubibwa obubi ennyo abasirikale ku poliisi e Mukono mu kiro nga balindiridde okulangirira omuwanguzi mu byava mu kalulu kaabwe.

Daisy alangiriddwa ku bululu 4,067 n’addirirwa Ssenyonga ku bululu 3,544, Robert Mugabe ku bululu 792 ne Herbert Omoding ku bululu 344.

Entabwe yajjawo oluvannyuma lw’okumala okulonda kyokka eyakuliramu okulonda mu divizoni y’e Goma, Joseph sulume n’alemererwa okutwala ebyali bivudde mu kulonda mu budde ku kifo we baakungaanyiza ebyava mu kulonda ebya disitulikiti yonna era eyalikuliramu okulonda e Mukono Nakabaale n’ategeeza nti yamala ekiseera ng’akuba ne ku ssimu ye ng’agiggyeko.

Wabula ono oluvannyuma yatuuka era n’akwasibwa ab’eby’okwerinda abaamutwala ku poliisi e Mukono n’aggulwako omusango gw’okukyusakyusa ebyava mu kulonda.

Kino kyavaako n’obutalangirira muwanguzi ku kifo kya munisipaali y’e Mukono okutuusa olwa leero era nga kikoleddwa Kampala ku kitebe kya NRM e Kyaddondo oluvannyuma lw’akakiiko ka Dr. Tanga Odoi, akulira eby’okulonda mu NRM okubyekenneenya.

Andrew Ssenyonga ng’ali n’abawagizibe, baagenda ku poliisi e Mukono mu kiro ku ssaawa nga nnya oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okukwatibwa kwa Sulume wabula eno abasirikale baabagwako ne babakuba bubi nnyo.

Ssenyonga ne muto we, era kkansala w’abavubuka ku disitulikiti y’e Mukono, Lauben Ssenyonjo baazirika ne babayoolayoona ne baddusibwa mu ddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital oluvannyuma gye baava ne babongerayo mu ddwaliro e Mengo nga taasulewo tasiibewo y’ali ku mumwa.

Ku Ssande ku makya, waliwo engambo ezaatandise okubungeesebwa okuyita ku mikutu gi mugatta bantu nga ziraga nga Ssenyonga bwe yabadde afudde wadde nga ky’akakasiddwa nti bino byabadde si bituufu nga gy’ali mulamu wadde ng’embeera ye tennatereera.

Kibuule, Ssekitooleko ne Nakavubu Bawangudde Akamyufu ka NRM

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!