Ebola: Gavumenti Ekkirizza Eddwaliro lya Saidina Health Centre IV Okuddamu Okukola

Gavumenti ng’eri wamu n’abatwala eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso bagguddewo mu butongole amalwaliro abiri agaali gaggalwa olw’okuteeberezabwa okubaamu ekirwadde kya Ebola.

Kuno kwe kuli eddwaliro lya Saidina Abubaker Health Centre IV e Wattuba  ku luguudo lw’e Bombo  wamu n’erya Aliimu Medical Clinic e Nansana-Nabweru nga gano gaali gagalwa minisitule y’eby’obulamu okumala akaseera  olw’okubeera n’akakwate ku musawo w’e Mulago eyafa ekirwadde  kya  ebola ekyabalukawo mu ggwanga gye buvuddeko.

RDC Suspends Swimming Lessons in Schools to Prevent Mpox Spread

Bwe yabadde mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya disitulikiti, akulira emirimu egy’ekikugu n’abakozi ba gavumenti e Wakiso (CAO) Alfred Malinga yategeezeza nti bakoze kyonna ekyetaagisa okwekebejja embeera wamu n’abasawo abali batebeerezebwa okubeera n’Ebola naye nga bonna baasiibiddwa nga tebalina bubonero buleeta kirwadde kino nga n’olw’ekyo mpaawo kibadde kiremesa ddwaliro lino kuddamu kukakkalabya mirimu.

CAO Malinga mu ngeri y’emu yategeezeza nga disitulikiti y’e Wakiso egenda kubaako obuyambi obw’enjawulo bw’egenda okuwaayo eri eddwaliro lino okusobola okutambuza obulungi emirimu.

Amasomero Gapaaluusizza Ffiizi Ku Bagenda mu S5-Agamu Gasabye Obukadde Busatu

Ate y’akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso, Dr Emmanuel Mukisa Muwonge agamba mu kiseera kino ng’ekirwadde ky’Ebola kigenda kikendeera ate balina obweralikirivu olw’omuwendo gw’abantu abeeyongera okukwatibwa obulwadde bwa Mpox era asabye bannayuganda okubeera ku bwerinde.

Kyokka y’akulira addwaliro lya Saidina Abubaker Health Centre IV, Dr Aniwaalo Kakeeto agamba nti bayise mu kaseera akazibu bukyanga eddwaliro lino liggalwawo wabula nga mu kadde kano bamalirivu okutuusa obuweereza obulungi eri Bannayuganda.

Mukono CAO, Headteachers In Trouble For Abuse Of Office, Financial Misconduct

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!