Eddie Mutwe asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Masaka, Abdallah Kaiza n’amusomera emisango mukaaga okuli n’egy’okukuba bannamawulire.
YY Bus Overturns, Catches Fire, Killing Unidentified Number of Passengers
Edward Ssebuufu abasing gwe bamanyi nga Eddie Mutwe nga ye mukuumi wa ppulinsipo wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu kyaddaaki aggyiddwa mu buwambye gy’akulungudde ebbanga erisoba mu wiiki ebbiri n’atwalibwa mu kkooti e Masaka.
Ab’eby’okwerinda batangidde Bannamawulire okukwata ebifaananyi olw’embeera ya Eddie Mutwe embi gy’abaddemu ng’abamulengeddeko abadde awaniriddwa abantu babiri ng’atambula awenyera.
Ono asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Masaka, Abdallah Kaiza n’amusomera emisango mukaaga okuli n’egy’okukuba bannamawulire.
Ono agattiddwa ku banne okuli bwe bakola ogw’obukuumi mu kibiina kya NUP okuli; Grace Wakabi, Mugumya Gaddafi ne Achilleo Kivumbi.
Eddie Mutwe atuusiddwa ku kooti e Masaka ku saawa z’amalya g’eky’emisana olwa leero ku Mmande May 5, 2025 wakati mu bukuumi obw’amaanyi era bannamawulire tebakiriziddwa kukwata bifaananyi nga n’ebifuniddwawo bibadde byakwebirira nga bibadde biraga nti Eddie Mutwe ali mu bulumi bwamaanyi nnyo ng’atambula awaniriddwa abasajja babiri ate ng’awenyera.
Oluvanyuma atwaliddwa mu kkooti nga ne munnamateeka we ttakkiriziddwayo wabula munnamateeka Kazibwe Majerani oluvannyuma lw’okwezooba n’ab’eby’okwerinda oluvannyuma akkiriziddwa okuyingirayo era bw’amaze okusomerwa emisango n’atwalibwa mu kkomera e Masaka.
Omu ku bannamateeka ba National Unity Platform Kazibwe Majerani ategeezezza ab’amawulire nga Eddie Mutwe bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Abdallah Kaiza n’aggulwako emisango mukaaga nga gy’egimu n’egyo egyaggulwa ku banne okuli okubbisa eryanyi, okukuba abantu 6 okuli ne bannamawulire babiri, n’okuboonoonera ebintu byabwe nga bino byaliwo ng’ennaku z’omwezi May 18, 2024 mu kuziika Paskale Ssekasamba e Manja.
Kazibwe era ategezezza nti omuntu waabwe yatulugunyiziddwa eby’ensuso ng’ali mu mbeera mbi ddala n’obulumi obw’amaanyi.
Ayongeddeko ng’embeera eno bw’ebawalirizza okusaba omulamuzi Abdallah Kaiza abakkirize atwalibwe mu ddwaliro bunnambiro naye ky’akkirizza.
Abakulembeze mu kibiina kya NUP okuli Gyaviira Lubowa Ssebina ne Kirumira Charles beemulugunyizza ku mbeera omuntu waabwe gy’alimu kko n’okukwata abantu baabwe ne batulugunyizibwa mu ngeri emenya amateeka.
Eddie Mutwe waakuddamu okulabikako mu kkooti e Masaka ng’ennaku z’omwezi 25/5/2025.
Gye buvuddeko, akulira ekibiina ekigatta bannamawulire mu Greater Masaka, Farish Magembe yasinzidde ku mikolo egy’okukuza olunaku lw’abamawulire ne yennyamira olw’embeera ey’ab’eby’okwerinda ne gavumenti okukozesa bannamawulire mu mbeera etulugunya n’okuyigganya abavuganya gavumenti eriwo mu kiseera kino n’alabula nti ssinga tekikoma, omulimo gw’amawulire gwolekedde akaseera aka akatyabaga.