Oluvannyuma lwa palamenti okuyisa ng’eggyawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulungamya omutindo gw’emmwanyi ekya Uganda Coffee Development Authority (UCDA) nga kigattibwa ku minisitule y’eby’obulimi, obwakabaka bwa Buganda bubuddeyo ne bulaga okunyolwa olw’ensonga eno.
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde eky’okuggyawo ekitongole ky’emmwanyi ki UCDA ekyayisiddwa Palamenti olunaku lw’eggulo n’ategeeza nti tewali kubuusabuusa ekyakoleddwa kyakoleddwa kubonereza Baganda.
Mu kiwandiiko ky’afulumizza ku lw’Obwakabaka bwa Buganda, Katikkiro ategeezezza nti Sipiika wa palamenti Anita Annet Among n’ababaka abaawagidde ekiteeso kino baasanyuse nga balowooza bawangudde Buganda wabula bano abajjukizza nti ekyayisiddwa kizingiramu bannayuganda abasukka mu bukadde bubiri.
Wabula Katikkiro asinzidde mu kiwandiiko kino n’asaba abantu ba Buganda ne Uganda yonna okusigala nga balima emmwanyi era akkaatirizza nti enkola ya Mmwanyi Terimba tegenda kuyimirira.
Katikkiro waaviiriddeyo nga waliwo akatambi akaafulumiziddwa akali ku mutimbagano nga kalimu Ssipiika Among ng’aliko b’alagira nti Abaganda tebageza okuweza nnamba nga ne kano kaasiikudde emmeeme z’abantu bangi nga beebuuza lwaki kino kyabadde bwe kiti. Wabula ne gye buli eno, tewannabaawo annyonnyola k’abeere Sipiika Among okunnyonnyola ku nsonga eno.