Eyaakava ku Kyeyo Yeesazeesaze Ng’ayagala Okwetta N’asattiza Ekyalo

1 minute, 26 seconds Read
Abatuuze bagamba nti Tuhaisi abadde mu kazigo ka mukwano gwe ategeerekese nga Mercy gwe yatandika okubeera naye ebbanga eritali ddene wadde ng’ate mbu n’ono abadde ky’aggye afulume eggwanga ate okugenda ku kyeyo mu limu ku mawanga ga Buwalabu.
Ekyalo Lweza Ekisangibwa mu Mukono Central Division mu munisipaali y’e Mukono kiguddemu ekyekango omuwala agambibwa nti abadde ky’aggye akomewo okuva ku kyeyo gy’amaze ebbanga bw’agezezzaako okwetta ng’ayita mu kumira eddagala eringi nga kino bwe kigaanye okumutta mu bwangu n’atandika okwesalaasala.
Omuwala ono ategerekese nga Brendah Tuhaisi nga kigambibwa yava mu disitulikiti y’e Kamwenge kyokka nga kiteberezebwa nti abadde yakadda ng’ono mbu abadde yaakava ku kyeyo nga wano abadde yakyala wa mukwano gwe okugira nga yeewogomyewo.
Omuwala Tuhaisi ng’ali ku kabangali ya poliisi.
Abatuuze bagamba nti Tuhaisi abadde mu kazigo ka mukwano gwe ategeerekese nga Mercy gwe yatandika okubeera naye ebbanga eritali ddene wadde ng’ate mbu n’ono abadde ky’aggye afulume eggwanga ate okugenda ku kyeyo mu limu ku mawanga ga Buwalabu.
Abatuuze wamu ne baliraanwa batubuulidde nti ono bamulengeddeko emisana ga leero ng’alembeka amazzi mu nkuba ebadde etonnya kyokka omu ku baliraanwa n’atebereza nti ono alabika tali bulungi era bagenze okwetegereza ng’amaze okwesalasala yenna emisuuwa eminene akulukusa musaayi ate ne mu nnyumba basanzemu amakerenda g’abadde amaze okumirako ekiteberezebwa okubeera ‘overdose’ wakati mu kwagala okukomya obulamu bwe kwe kutegeeza ki b’obuyinza.
Samuel Kabenge akola ng’ow’amawulire ku lukiiko lw’ekyalo atugambye nti bamaze okukwatagana ne poliisi okunonya ab’oluganda lwe kyokka n’alabula bannannyini mayumba okwewala okuwa ennyumba abantu be batamanyi.

Poliisi okuva mu kabuga k’e Wantoni mu kibuga Mukono yatuuse n’eddusa omuwala ono mu ddwaliro lya Mukono General Hospital nga taasulewo taasibewo y’ali ku mimwa.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!