Kabaka: “Tukyalina bingi bye tulina okukola bitusobozese okusiguukulula enkwe, obuggya n’effutwa ebikolebwa abalina empiiga ku Bwakabaka.”
Bya Lillian Nalubega
Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza abantu be obubaka obubaagaaliza Amazaalibwa ga Yezu Kristu ag’emirembe n’omwaka omuggya omulungi era ogw’eby’engera.
Mu bubaka bwa Maasomoogi, alaze okunyolwa olw’abantu abalina enkwe, Effutwa n’empiiga eri Obwabaka bwa Buganda.
Obubabaka bwa Magulunnyondo bugenda bwe buti mu bulambulukufu;
“Tubalamusizza mwenna era tubeebaza byonna bye mukola ku Iw’Obwakabaka ne Uganda yonna. Twebaza Katonda okutukuuma okutuuka leero.
Ebizibu n’obuwanguzi obutuukiddwako mu 2023 gubeere omusingi ogunaatusobozesa okuyingira mu mwaka omuggya nga tumanyi gye tuva ne gye tulaga. Buli kye tukoze ne bye tuteekateeka okukola nga bya bulungi bwa Buganda ne Uganda, tubiremereko nnyo nga tulina essuubi ery’okuwangula. Tubakubiriza obutaggwaamu maanyi kubanga Katonda teyeerabira abalemera ku mazima n’obwenkanya.
Tukyalina bingi bye tulina okukola bitusobozese okusiguukulula enkwe, obuggya n’effutwa ebikolebwa abalina empiiga ku Bwakabaka. Tukyalina eddimu ery’okunyweza obumu mu bavubuka basobole okwogera n’eddoboozi eryawamu ate nga lya mwanguka ku nsonga ezikwata ku Bwakabaka mu Uganda eyawamu. Empisa yaffe ey’okutta n’okuzimba emikago twongere okuginyweza era tuvumirire nnyo abavuma omukago nga bagufudde obunafu.