Dr. Crispus Nkoyoyo, nga y’amyuka akulira eddwaliro lino yannyonnyodde nti nabo ng’abasawo kibakosa okulaba ng’abantu ababa bavudde mu bulamu bw’ensi, tebalina kifo kitongole we bayinza kubatereka.
Abatuuze, abakulembeze n’abasawo mu bizinga by’e Buvuma bavuddeyo ne balaga obutali bumativu olwa gavumenti okulemererwa okubazimbira eggwanika ku ddwaliro eddene lyokka lye balina mu disitulikiti erya Buvuma Health Centre IV.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Buvuma, Adrian Wasswa Ddungu yagambye nti ebitasoboka walala bisoboka mu bizinga by’e Buvuma nga wano yanokoddeyo eky’emirambo okubeera mu busenge omujjanjabirwa abalwadde n’okugisanga nga bagitadde ku mbalaza z’eddwaliro nga bino byonna bijjawo olw’eddwaliro lino erikola ennyo okujjanjaba abalwadde ate ng’ababa bafudde tebalina ggwanika we bayinza kubakuumira.
Bino byavuddeyo oluvannyuma lw’abatuuze mu kiro ekyakeesezza ku Lwokuna lwa wiiki ewedde nga July 3, 2025, abafumbo Zebio Kaaya ne mukaziwe Norah Namiiro, abaafunye obutakkaanya okukkakkana nga balwanye ekyavuddemu Namiiro n’akwata ejjambiya n’atema bba n’afa ng’addusibwa mu ddwaliro.

Dr. Lulume, Erias Lukwago Bagudde mu Bintu mu Kibiina Kya Dr. Besigye
Okusinziira ku David Kasirye, ssentebe w’ekyalo Bukambe ekisangibwa mu ggombolola y’e Nairambi mu disitulikiti y’e Buvuma, Namiiro ow’emyaka 46 yamuyita mu kiro n’amutegeeza nga bwe yali akubye bba Kaaya ow’emyaka 50 n’amusaba amuyambe amudduse mu ddwaliro.
Kasirye yagamba nti yakubaakuba ku bataka ne bakwata Kaaya ne bamuteeka ku bodaboda ne boolekera eddwaliro lya Buvuma Health Centre IV wabula nga baagenda okutuuka mu ddwaliro, abasawo ne bakabatema nti omuntu yali amaze okufa.
Wadde nga mu mbeera eza bulijjo, wano omugenzi yali alina kuteekebwa mu ggwanika, ng’eno abasawo gye baalina okumwekebejjeza okuzuula ekyamuviiriddeko okufa olwo ne balyoka bakwata omulambo ne baguwa bannanyinigwo okugenda okuguziika, mu ddwaliro e Buvuma kino ssi bwe kyali.

Good Samaritan Sisters Lose Over 200 Acres of Land to Grabbers
Abasawo baavudde mu kasenge ddokita mw’alabira abalwadde olwo ne basibiramu omulambo era okumala olunaku lwonna, nga kano kaggale okutuuka ddokita lwe yamaze emirimu emirala n’agenda okwekebejja omulambo gwa Kaaya ne guweebwa ab’oluganda olwo ate akasenge ne kaddamu okukola ogw’ako omutongole.
Olw’embeera eno, abakulembeze n’abatuuze baavuddeyo ne beekubira enduulu eri gavumenti nga bagamba nti eddwaliro lya Buvuma Health Centre IV, wadde nga lye ddwaliro eddene disitulikiti ly’erina, kikwasa ennaku okulaba ng’ate teririna ggwanika nga kino bazze bakitegeeza gavumenti naye tebannaba kufuna kwanukulwa.
Aloysius Ssemwogerere, ssentebe w’omuluka gw’e Busamuzi yannyonnyodde nti kikuba encukwe okulaba ng’ekisenge ba ddokita mwe balabira abalwadde, ate mu kiseera kye kimu kye kikola ng’eggwanika bwe wabaawo afudde ne basaba gavumenti eveeyo ebazimbire eggwanika bawone ensisi etuusizza n’abantu abamu okuzira eddwaliro.
Dr. Crispus Nkoyoyo, nga y’amyuka akulira eddwaliro lino yannyonnyodde nti nabo ng’abasawo kibakosa okulaba ng’abantu ababa bavudde mu bulamu bw’ensi, tebalina kifo kitongole we bayinza kubatereka.
“Tukimanyi bulungi mu buyigirize bwaffe ng’abasawo nti omuntu bw’amala okufa, omubiri gwe guweebwa ekitiibwa era gukwatibwa mu ngeri erambikiddwa okutuusa lw’aziikibwa. Naye olw’embeera gye tukoleramu ey’okweyiiya, y’ensonga lwaki tusalawo okuwaayo waakiri akasenge ako okukuumiramu bannaffe ababa batuvudde ku maaso ng’era tuba twewala kujjawo kujagalaza n’okwesisiwaza abalwadde,” bwe yannyonnyodde.
Nkoyoyo yagambye nti bazze bawandiika alipoota nga baziweereza eri abakulu mu minisitule era balina essuubi nti olunaku lujja kutuuka okusaba kwabwe kuddibwemu.