Kitalo! Abatuuze Basatu Bafudde Lumu ku Kyalo, Ababiri Bagudde mu Nnyanja!!!

1 minute, 50 seconds Read

Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo, Costa Ndagire, abaagudde mu nnyanja ye Jovan Ssali, ng’ono abadde muyizi mu S.3 ku ssomero lya Kojja Senior Secondary School erisangibwa e Nsanja mu Katosi TC ssaako Livingstone Kyazze.

Buziga Country Resort Sauna Explosion Leaves Several Injured

Ekikangabwa kigudde mu batuuze ku kyalo Mengo ekisangibwa mu ggombolola y’e Mpunge mu disitulikiti y’e Mukono, abatuuze babiri okuli n’omuyizi owa S3 ababadde bagenze okuvuba emmamba mu kitoogo ekiri ku lubalama lw’ennyanja Nalubaale bwe bagudde mu nnyanja ne bafa.

Eby’embi, abatuuze bagamba nti wakati mu kukuma olumbe n’okukola emikolo okulaba ng’emirambo gya bano bagizuula, ate mu kiro ekikeesezza olwa leero, waliwo omutuuze abadde mu lumbe eyafudde wakati mu kire ky’enkuba wabula nga ne gye buli eno ono ekyamusse tebannakitegeera.

Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo, Costa Ndagire, abaagudde mu nnyanja ye Jovan Ssali, ng’ono abadde muyizi mu S.3 ku ssomero lya Kojja Senior Secondary School erisangibwa e Nsanja mu Katosi TC ssaako Livingstone Kyazze. Ssentebe Ndagire agamba nti ye mutuuze munnaabwe eyafudde abadde akola gwa bupakasi ku kyalo ng’amannya ge tegategeerekese.

Abamu ku batuuze nga bali nnyanja gye bali mu kulindira omulambo gwa Kyazze okutannalabika.

Abatuuze bagamba nti abaagudde mu nnyanja, okutegeera nti baabadde baguddemu kyaddiridde abaagenze ku nnyanja okusanga ng’akaato kali ku mazzi kungulu ate nga n’ebintu byabwe byasigadde ku lubalama. ggwo omulambo gwa Ssali guzuuliddwa ku makya ga leero sso ng’ate ogwa Kyazze gukyabuze.

George Kyaligamba, kojja wa Kyazze agamba nti baagenze ku nnyanja okuvuba ku Lwomukaaga ssaawa nga ttaano, nga bwagenze okuziba nga tebabalabako kwe kwessa mu ddene okugenda mu nnyanja okutandika omuyiggo.

Bano ekifo we baagudde kiri wakati mu kitoogo nga bbo abavubi bakiyita Kitayanja nga wano we babadde bavubira emmamba okumala ebbanga wadde ng’eby’embi, ku mulundi guno tebaalutonze.

Bagamba nti akaato ke baabaddemu kandiba nga kaayabise ne kayingiramu amazzi ne babbira.

Irene Nakimuli, maama wa Livingstone Kyazze, om uku baagudde mu nnyanja agamba nti ye mutuuze w’e Wabusaana mu disitulikiti y’e Luweero ng’agamba nti baamukubidde ssimu ne bamutegeeza nga mutabaniwe bwe yabadde agudde mu nnyanja.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!