
Abaana bana baagudde mu nnyanja bwe baabadde bazannyisa bbaluuni okukkakkana nga basatu ku bbo bafudde ate omu n’asimattuka abatuuze bwe baamutaasizza nga tannabbira.
Ekikangabwa kino kyagudde ku mwalo gw’e Nakibizzi mu muluka gw’e Namatale mu ggombolola y’e Bwema mu disitulikiti y’e Buvuma ku Lwokutaano mu ttuntu.
Abaafudde kuliko Seera Tolofayina ow’emyaka 12, Livingstone Mulakama ow’emyaka munaana ne Enock Kibereji ow’emyaka etaano nga bano bazaalibwa Allen Kulabako ne John Kibereje abatuuze ku kyalo Mulogo mu muluka gw’e Namatale mu ggombolola y’e Bwema.
Okusinziira ku bazadde abatunnyonnyodde ku kikangabwa kino ekyabagwiridde, omwana omu ku bana, Scovia Nabuteme abatuuze gwe baasobola okutasaako abasigadde ne bafa.
Maama w’abaana Kulabako yategeezezza nti abaana baamusaba bagende ku nnyanja bayoze engoye nga beetegekera okuddayo ku ssomero okusoma ku Mmande nga February 10, naye mbu yabagaana kyokka ng’olwamulaba ne bba nga bagenze okugula mukene nabo ne bakwatamu ebyabwe ne boolekera ku nnyanja ng’eno gye baagwiridde mu nnyanja.
Emirambo gy’abaana ababiri bagamba nti gyalabika ku Lwokutaano ate ogumu ne gusooka gubula nga baagulabye ku Ssande ne bategeka okuziika abaana bano bonna abasatu lumu ku Mmande.

Abaana bano babadde bayizi ku ssomero lya St. Matilda Nursery and Primary School erisangibwa ku kyalo Mulogo ng’omusomesa waabwe, Maria Asumpta Namutebi yategeezezza Bukedde nti babadde bayizi balungi kyokka n’awa abazadde amagezi okwewala okusindika abaana ku nnyanja nga bali bokka.
Ye Kalifan Bogere nga ye ssentebe w’ekyalo Mulogo naye alabudde abatuuze okwewala okulagajjalira abaana n’agamba nti n’emyaka ebiri egiyise, waliwo mutuuze munnaabwe Ben Ngoloobe naye eyafiirwa abaana basatu, mwana munnaabwe bwe baali bazannya n’ababbika mu nnyanja.
Okuziika abaana bano okwabaddewo ku Mmande kwasombodde abantu abaaweredde ddala okuva ku myalo egy’enjawulo ssaako abakulembeze abakulembeddwa omubaka wa palamenti ow’ebizinga by’e Buvuma, Robert Migadde Ndugwa, ssentebe wa NRM owa disitulikiti, Friday Wandera, eyali amyuka ssentebe wa disitulikiti, Harriet Nakizito Musiho n’abalala.
Omubaka Migadde yategeezezza abakungubazi nti ekiseera kino abazadde bano kye balimu kya ntiisa nnyo gye bali nga teri muntu ayinza kubagumya olw’obulumi bwe bayitamu. Kyokka yabategeezezza nti balina okwebaza Katonda eyabaddiddemu, omwana omu n’asobola okutaasibwa abatuuze.
Ssentebe wa NRM e Buvuma Wandera yawadde abazadde n’abatuuze bonna okutwalira awamu amagezi okuddamu okufaayo ku baana nga tebakulembeza abo be bazaala bokka wabula nga babatwala nga bwe gwali edda ng’omwana wa kyalo.