Eyaliko Division Police Commander wa Jinja Road Police mu Kibuga Kampala, Senior Superintendent of Police Julius Ahimbisibwe kigambibwa nti yesse!
Mu kiseera kino, poliisi ebakanye n’okubuuliriza ku ttemu lino. Omulambo gwa Ahimbisibwe gunnyuluddwa mu Septic tank mu maka ge agasangibwa ku kyalo Nakitokolo, Kyengera amakya ga leero.
Ahimbisibwe abadde yayimirizibwa ku mulimu ng’anoonyerezebwako ku bigambibwa nti yakuba eyali mukyala we amasasi n’amulumya era ng’efunda eziwerako yeegayiridde abakulu mu Poliisi okumuzza ku mulimu nga buteerere.