Amawulire ga nnaku oluvannyuma lw’eyaliko omukozi ku Leediyo y’Obwakabaka CBS mu myaka gy’e 90, Ssaalongo John Ssekandi okuva mu bulamu bw’ensi eno.
Ssaalongo John ng’abasinga bwe babadde bamumanyi yayatiikirira nnyo olw’engeri gye yasomangamu ebirango ku CBS. Ono amaze akabanga ng’olumbe lumubala embiriizi nga Katonda amujjuludde olwaleero.
Ssaalongo John mutuuze w’e Mukono e Nabuti n’e Bunankanda mu Ntenjeru-Kisoga. Enteekateeka z’okuziika mu kiseera kino tezinnategeerekeka.
Omukama Katonda amusaasire ebyamusobako!
Increase in Number of Men Testing Positive for Breast Cancer Worries Medics at Mulago
Buganda Kingdom Justifies the Little Sisters’ Yearning for Mother Kevin’s Canonisation