Abaganda nate baguddemu encukwe bwe bafunye amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika omulala, Omutaka Luwonko Mbale Zamuwanga James, omukulu w’ekika ky’Ekiwere.
Omutaka Luwonko abadde mutuuze ku kyalo Kigombya mu divizoni y’e Mukono mu munisipaali y’e Mukono.
Kigambibwa nti Omutaka yafiira mu ddwaliro ly’e Kawolo mu kibuga ky’e Lugazi ennaku 12 eziyise.
Gibadde miranga na kwaziirana ku kkanisa ya St. Gideon e Kigombya ng’omulambo gw’omutaka Luwonko guleeteddwa mu kkanisa okukusabira.
Rev. Mikka Lukwago Migavu, omusumba w’obusumba bw’e Ddandira mu busaabadinkoni bw’e Nassuuti mu bulabirizi bw’e Mukono y’akulembedde okusaba kuno.
Ono akunze abantu abeetabye mu kusaba kuno okudda eri Yesu bave mu kukkiriza ebitaliimu.
Okusinziira ku nteekateeka, omutaka agenda kuziikibwa ku kyalo Kisininya mu disitulikiti y’e Kiboga olunaku lw’enkya ku Lwokusatu.
Okusaba kuno kwetabiddwamu ssipiika w’essaza ly’e Kyaggwe, Jonathan Ntulume, eyaliko meeya, George Fred Kagimu n’abakukunavu abalala.