Obwakabaka bwa Buganda buguddemu encukwe oluvannyuma lw’okuseerera kw’omulangira Daudi Golooba ng’ono y’omu ku baana ba Ssekabaka Edward Muteesa II.
Omulangira Golooba Omutonzi amujjululidde mu ddwaliro lya St. Francis e Nsambya olwa leero nga February 23, 2025.
Amawulire g’okuseerera kw’Omulangira gategeezeddwa Obuganda okuva wa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’ayita ku mikutu gi mugatta bantu.
“Kitalo nyo!
Omulangira Daudi Golooba omu ku baana ba Ssekabaka Edward Muteesa II, Omutonzi amujjuludde olwa leero mu ddwaliro e Nsambya gy’abadde ajjanjabirwa okumala akaseera.
Gutusinze nnyo Ayi Ssaabasajja, twakumye bubi!” omubaka bwa Katikkiro obubika Omulangira Golooba bw’ayisizza ku kubanja kye ekya FaceBook.
Eyatuula S4 Awuniikirizza Ekyalo Bw’akoze Amafuta Agatambuza Ebidduka
Second Worker Crushed by Machine in Chinese Factory in Four Days