Makerere University Set to Render 500 Non-Teaching Staff Jobless in Restructuring Exercise
Abayizi n’abasomesa ku ssomero lya Gombe Secondary School mu Gombe Town Council mu Butambala disitulikiti baaguddemu encukwe omusomesa waabwe bwe yafudde ekibwatukira.
Ayub Sseruwagi, omusomesa abadde avunaanyizibwa ku by’emizannyo ku ssomero lya Gombe S.S abadde amanyiddwa ennyo nga Kapi ye yafudde mu ngeri ey’amangu.
Kigambibwa nti Sseruwagi yagwiriddwa ekimbe mu bwangu era baabadde bamutwala mu ddwaliro lya Gombe Hospital okusobola okufuna obujjanjabi n’afa nga tannatuuka mu ddwaliro.
Sseruwagi yali muzannyi wa mu mupiira ku ssomero lino era oluvannyuma ng’amaze emisomo yaddayo ng’omusomesa era n’atwala n’ogw’obutendesi bw’omupiira.
Opposition MPs Who Bagged Sh100m Museveni Cash Bonanza Commits to Return It