Omwami wa Kabaka omuggya atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu n’abamyukabe okuli omumyuka asooka Moses Ssenyongo Kiyimba, n’ow’okubiri Fred Katende Kangavve batuuziddwa mu kitiibwa, ng’abakulembeze ab’essaza ly’e Kyaggwe.
Omukolo gw’okutuuza Ssekiboobo gukuliddwamu Minisita wa Kabaka ow’abavubuka n’eby’emizannyo Robert Sserwanga ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mengo, Joseph Kawuki sso nga ne ba Minisita ba Kabaka okuli Cotilda Nakateow’enkulaakulana mu woofiisi ya Nnaabagereka, Mariam Mayanja Nkalubo owa Bulungibwansi nabo tebalutumiddwa mwana.
Omukolo guno guyindira ku mbuga y’essaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono. Omukulu w’ekika ky’Engabi, Mukasa Nsamba y’asiizeeyo Ssekiboobo Matovu okuweereza Kabaka.
Jjajja Nsamba yeebazizza muzzukuluwe olw’okukkiriza okuyitibwa kwa Ssaabasajja n’atamukuba bwami. Ono akakasizza nti Matovu aggya kuweereza Beene ewatali kumutiiririra kuba musajja mukozi, ayagala nnyo Ssaabasajja Kabaka n’Obuganda okutwalira awamu.
Ssekiboobo bw’amaze okumwambaza, akulembeddwamu ba Minisita Sserwanga ne Kawuki ne bamutwala mu nnyumba Kagerekamu ng’eno y’ennyumba entongole ey’essaza ly’e Kyaggwe.
Ssekiboobo era akubye engoma Kagerekamu olwo ng’enduulu n’emizira bwe bivuga.
Omukolo mu kiseera kino guliko abantu abawerera ddala omuli Ssekiboobo Elijah Lubanja Mulembya ono gw’addidde mu bigere n’abamyukabe, omubaka wa palamenti owa Mukono North, Abdallah Kiwanuka, eyaliko meeya w’ekibuga ky’e Mukono, George Fred Kagimu, eyaliko omubaka wa palamenti owa Mukono South, Johnson Muyanja Ssenyonga n’abalala.