Kyagulanyi N’abakulembeze Ba NUP Bakadde Masaka Okulambula ku Eddie Mutwe ne Banne

0 minutes, 57 seconds Read

Yagguddwako emisango mukaaga okuli n’egy’okukuba bannamawulire ssaako okubbisa eryanyi, nga ne bwe kityo, yagattiddwa ku banne abaasooka okukwatibwa mu mbeera ey’okuwambibwa ne bamala ne bavunaanibwa emisango gino era bamaze akaseera akawera ku limandi.

NUP Subjects Masaka Journalists to Life Threats Over Detention of Bobi Wine’s Guards

Abakulembeze b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) bakedde kubiteekamu ngatto okwolekera e Masaka ku kkomera okulambula ku basibe okuli Edward Ssebuufu amanyiddwa ennyo nga Eddie Mutwe, Achileo Kivumbi, Mugumya Gaddafi ne Grace Wakabi.

Bano bakulembeddwamu omukulembeze wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu, ssaabawandiisi w’ekibiina, David Lewis Rubongoya ne bannamateeka.

Eddie Mutwe eyawambibwa omwezi oguwedde n’ateekebwa mu kifo eky’ekusifu gy’amaze ekiseera ng’atulugunyizibwa ebitagambibwa yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Masaka ow’eddaala erisooka, Abdallah Kaiza ku Mmande nga May 5, 2025 kyokka ng’ono embeera y’obulabwe bwe yalabise nga mbi nnyo.

Yabadde tasobola kwewanirira ng’atambula ng’aliko abasajja babiri abateeberezebwa okuba ab’eby’okwerinda nga bamuwaniridde.

Yagguddwako emisango mukaaga okuli n’egy’okukuba bannamawulire ssaako okubbisa eryanyi, nga ne bwe kityo, yagattiddwa ku banne abaasooka okukwatibwa mu mbeera ey’okuwambibwa ne bamala ne bavunaanibwa emisango gino era bamaze akaseera akawera ku limandi.

Zimbabwe Envoy’s Wife Jolin Rugari Further Remanded Over Murder

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!