Abakulembeze b'ekyalo nga basitudde abaana Namukasa be yaleka mu nnyumba. Mukatono ku kkono ye Namukasa nga bw'afaanana.

Maama Eyaleka Ow’emyezi 8 Emyaka 2 N’ena Bokka mu Nnyumba Abeewanisizza Emitima!

2 minutes, 13 seconds Read

BYA ABU BATUUSA | WAKISO | KYAGGWE TV | Waliwo maama eyeewanisizza abatuuze emitima ng’entabwe eva ku kuva waka n’aleka abaana abato bokka mu nnyumba kati ebbanga erisobye mu wiiki emu.

Hidaya Namukasa ye yeewanisizza emitima abatuuze ku kyalo Kigoma mu muluka gw’e Bukasa mu ggombolola y’e Wakiso mu disitulikiti y’e Wakiso oluvannyuma lkw’okuva ewaka n’atakomawo kyokka ng’alese abaana abato ddala nga tebaliiko alabirira.

Okusinziira ku bannanyini nnyumba Namukasa kw’apangisa okuli David Kasimaggwa ne Hashinga Rehemah, abaana abaalekebwa bokka mu nnyumba okumala ebbanga lino kuliko ow’emyezi omunaana Haria, ow’emyaka ebiri Ozil ne Hardison ow’emyaka ena ng’ono y’abadde alabirira banne.

Ba nannyini nnyumba bagamba nti Namukasa guno si gwe gusoose okuleka abaana ewaka bokka ng’azze akikola nga ne bwe bamugambako tabonerera.

Bagamba nti bali mu kutya nti abaana bayinza okufuna obuzibu obuyinza n’okubaviirako okufa kyokka nga n’eby’embi kwe kuba nti n’eky’okulya tebakirina nga babaddenga basiima njala.

Wabula omwana omukulu ategeezezza nti maama waabwe poliisi yamuggalira kyokka ng’eky’akabi teyabalekera wadde eky’okulya! Ono akoowodde maamawe yonna gy’ali okukomawo ng’agamba nti bali bubi baagala aggye abataase kuba n’eky’okulya tebakirina.

Hidaya Namukasa eyaleka abaana mu nnyumba.

Ba nnanyini nnyumba Namukasa kw’apangisa bagamba nti bamukkuse kuba atuuse okubasuula mu buzibu nga ne bw’anaaba akomyewo tebakyamwagala ku nnyumba zaabwe.

Ssentebe w’e Kigoma Samson Kiyimba, Samuel Kalema ow’amawulire ku kyalo ne Nnaabakyala Jucinta Mugisha basitukiddemu okutuuka mu kazigo omubadde abaana bano wabula nga kibaweddeko olw’embeera gye babasanzeemu.

Ssentebe Kiyimba agamba nti taata w’omwana omukulu nti aliko ekitongole kya gavumenti ky’akolera kyokka nti bazzenga bamusaba okuwa mukaziwe obuyambi bw’omwana naye nga tawulira.

Bano bagamba nti buli mwana ku basatu bano aliko kitaawe kyokka nga bonna balabika mukyala waabwe tebamuwa buyambi bwa mwana nga y’atoba nabo ng’omukazi.

Kyokka abakulembeze eky’okuba nti omukazi ono Namukasa poliisi yamuggalira ng’omwana bw’agambye bagamba nti tebalina kye bakimanyiiko.

Jacinta Mugisha, ow’abakyala ng’ali n’abaana mu nnyumba nnyaabwe mwe yabaleka kati ebbanga erisobye ne mu wiiki ennamba.

Abakulembeze abalala okuli ow’amawulire Kalema ne Jacinta Mugisha ow’abakyala basabye ebitongole ebirabira abaana okuvaayo biggye bitaase obulamu bw’abaana bano nga bwe banoonya maama waabwe gye yabulira.

Abaana bano tubasanze mu nnyumba maama waabwe mwe yabasuula nga kati ssabbiiti bakulungudde nnamba bukyanga abalekawo. Abakulembeze beekebezze ebintu bya Namukasa ne basobola okugwa ku bifaananyi bye nga wano we basinzidde okusaba oyo yenna amamumanyi okuvaayo abategeeze amayitire ge na butya abaana bwe bayinza okuyambibwa.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!