Abasawo nga batwala Namwanje mu ambyulensi okumwongerayo mu ddwaliro eddene e Mulago. Mu butono, Ssabakaaki ku kkono ne Namwanje ku ddyo.

Mmaneja wa Ffaamu Y’essomero Lya St. Thereza Namilyango Girls Muganziwe Amutemyetemye Lwa Kumukyawa

2 minutes, 17 seconds Read

Ekikangabwa kigudde ku ssomero lya St. Thereza Namilyango Girls Boarding Primary School erisangibwa ku kyalo Namilyango mu divizoni y’e Goma mu munisipaali y’e Mukono omu ku bakozi ku ffaamu y’essomero omukwano bwe gumulinnye ku jjoba n’atemaatema mmaneja wa ffaamu eno ng’amulanga kumukyawa.

Henry Ssabakaaki y’agambibwa okufuna obutakkaanya n’abadde muninkiniwe era mmaneja wa ffaamu y’essomero, Maurine Namwanje okukkakana ng’amukyaye.

Kaweefube wa Ssabakaaki okwogereza Namwanje amuddirimu kigambibwa nti yagudde butaka okukkakkana ng’amutemyetemye.

Abasawo nga baggya Namwanje mu waadi mwe batuusiza abali obubi mu ddwaliro e Mukono okumwongerayo mu ddwaliro e Mulago.

Ekikangabwa kino kiguddewo nkya ya leero ku Lwokuna nga December 12, 2024, Namwanje bwe yakedde okugenda mu ffaamu okukola emirimu gye kyokka Ssabakaaki aludde ng’amwegayirira amuddiriremu oluvannyuma lw’okumukyawa nga ye akyamwagala n’amulumbayo n’amutema ejjambiya omubiri gwonna.

Sulaiman Jjumba agamba nti Ssabakaaki atemyetemye Namwanje ejjambiya mu ffeesi, ku mukono ogwa kkono, ku bisambi byombi, ku bbeere erya kkono, ne ku lubuto.

Jjumba agamba nti nga bamaze okuyoolayoola Namwanje ne bamuddusa mu ddwaliro lya Mukono General Hospital abasawo gye bakoledde buli kisoboka okulaba nga bamutaasa, ate ssempappe Ssabakaaki mbu akutte ejjambiya ne yeesala omumiro.

Wadde poliisi y’e Seeta eyitiddwa n’ekwata Ssabakaaki ng’embeera ye mbi ayebaayeba buyebiiyebi n’emuddusa mu ddwaliro lya Mukono General Hospital, kitegeerekese nti ono oluvannyuma ate afiiridde mu ddwaliro.

Ye Namwanje abasawo oluvannyuma lw’okumuwa obujjanjabi obusookerwako e Mukono, bamutadde mu ambyulensi ne bamutwala mu ddwaliro ekkulu e Mulago abasawo abakugu okwongera okumukolako balabe nga bataasa obulamu.

Muganda wa Namwanje, Irene Nagawa ng’ono bwe babadde mu nnimiro kalibutemu gy’abasanze, ebibaddewo abinyumya abiddingana.

Henry Ssakaaki ku kkono ne Maurine Namwanje gwe yatemeetemye.

Mu siteetimenti gy’akoze n’abasirikale b’e Seeta, Nagawa agambye nti ekiro ekyakeesezza olwa leero, Ssaabakaaki yamukubidde essimu n’amutegeeza nga Namwanje bw’amuliiridde ssente ze nnyingi nnyo ate n’amala n’amukyawa ng’agaanye baddingane.

Mbu Ssaabakaaki yamugambye nti yatunda ne ppoloti ye n’embizzi nga zonna ssente Namwanje azikuba ku mumwa kyokka abaddenga amusaba baddingane ng’alinga afuuyira endiga omulere.

Mbu bw’atyo eggulo yamutegeezezza nga bw’agenda okukolawo akatiisa nga wadde Nagawa yagezezzaako okumuwooyawooya, byonna byamuyise ku mutwe nga mudalizo.

Amyuka omukulu w’essomero lino, Rose Namirembe naye ayogedde ku kikangabwa ekibatuseeko kyokka n’ategeeza nti essomero likola kyonna ekisoboka okulaba ng’obulamu bwa Namwanje butaasibwa.

Namirembe amyuka omukulu w’essomero lya St. Thereza Namilyango Girls Boarding P/S.
Abasirikale nga beekenneenya ekifo Ssabakaaki we yatemedde Namwanje mu ffaamu y’essomero.
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!