Rev. Dr. Peter Bakaluba Mukasa (ku kkono) n'abadde omumyukawe, Hajji Asuman Muwummuza.

Munna NUP Bakaluba, Ssentebe W’e Mukono Agobye Abadde Omumyukawe Owa NRM Muwummuza

2 minutes, 15 seconds Read
Jerome Kabali (ku ddyo) nga bakkansala bamwaniriza mu woofiisi.

Munnakibiina kya NUP, ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono akutte ku nkoona abadde omumyukawe okumala ebbanga lya myaka ena, munnakibiina kya NRM, Hajji Asuman Muwummuza n’amusikiza omuntu omulala.

Muwummuza gwe twogeddeko naye ku lukomo lw’essimu akakasizza nga mukamaawe bwe yamuwandiikira n’amulagira okumuddiza woofiisiye obutasukka nga February 24, era nti naye kino kye yakoze mu ngeri ya “nninyi kakomo bw’akakusaba oteekawo buteesi mukono.”

“Bannange nze ndi wange woofiisi nnagivuddemu,” Mwummuza bw’ategeezezza.

Ono basukizizza kkansala akiikirira eggombolola y’e Naggojje mu lukiiko lwa disitulikiti, Jerome Kabali, era ono bwe tuwubyeko olubu lw’ekigere mu woofiisi y’amyuka ssentebe tumusanzeeyo ng’ali mu bitabo okuli ssemateeka ssaako amateeka agafuga gavumenti ez’ebitundu ng’abikkula bw’asoma ekiraze nti ddala ono woofiisi gy’azzeemu ategedde bye yeetaaga.

NRM MPs Defy Supreme Court, Want Civilians Back in Military Courts

Okusinziira ku bigenda mu maaso, ssentebe Bakaluba waakuteeka erinnya lya Kabali mu kkanso enaatuula nga March 5, olwo bakkansala bamukakase mu ntebe gy’alondeddwamu agibukalemu.

Ssentebe era alisinziira mu kkanso eno okutegeeza oba Kabali era y’anaabera minisita atwala eby’ensimbi, ekifo Muwummuza ky’abaddemu.

Kiki Ekigobezza Muwummuza?

Oluvannyuma lw’okugobwa kwa Muwummuza, abantu ab’enjawulo baavuddeyo dda ne batandika okuwa ensonga buli omu z’alowooza nti ze zireetedde Bakaluba okumunaabira mu ngalo.

Abasinga bawuliddwa nga bagera olugero olugamba nti “Amazzi gakulukutira gye gaali gakulukutidde,” na bwe kityo nti oluvannyuma lw’eyaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, munna NRM, Francis Lukooya Mukoome okulangirira nga bwe yayingira olw’okwano olw’okuvuganya ku kifo ky’obwa ssentebe bwa disitulikiti, nti Muwummuza wano we waamuviiridde akalimu obuwuka.

Nigerian Footballer Dies in Uganda: Police Report Rules Out Car Accident as Cause of Death

Kigambibwa nti Bakaluba eyasooka okulaga nti tatidde Lukooya, ate mbu kati atandise okusiba ebikutuka ng’atya nti oba oly’awo omusajja bw’atamwegendereza ayinza okumukunkumula omukono mu kibya. Na bwe kityo, kwe kutandika okusala buli kaguwa k’alowooza nti Lukooya ayinza okukakozesa okulandirako.

Mu mbeera eno, Muwummuza bwatyo n’atalutonda ng’oba oly’awo, mbu Bakaluba alowooza nti ono bw’anaatandika okwekulubeesa ne Lukooya, ayinza okumuwa empangi w’atandikira era gye byaggweredde nga musajja wattu Muwummuza bamulagidde efumbye wadde nga n’emmere tennaggwa ku lujjuliro, anti omwaka ekyabula mulamba ekisanja kino okuggwako.

Ng’alonda Muwummuza, Bakaluba yategeeza nti ekifo kino yayagala kukiwa Basiraamu nabo basobole okuba nga batuuka butereevu ku lujjuliro lwa disitulikiti nga na bwe kityo, eriyo abamubuuzizza oba ate kati bwe yatunuddetunudde mu kkanso nga Jerome atamanyi na bwe bayaziina, y’anaasobola okutuusa obulungi ensonga z’Obusiraamu eziremye Hajji Muwummuza!

Okumanya Bakaluba yali atamidde Muwummuza, baamutunuza ne mu ky’okuba nti ono yali wa NRM mbu nga n’ebitabo alina bya munguuba, naye nga y’ebyo byonna bimuyita ku mutwe nga mudaali.

Mukono Teachers Undergo Competence-based Curriculum Training

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!