Munnamateeka wa NUP George Musisi Ajunguludde Eby’okwesimba ku Ssemujju e Kira

2 minutes, 26 seconds Read

Munnamateeka w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) George Musisi ajunguludde ebizze biyitingana nti agenda kuvuganya Ibrahim Ssemujju Nganda ku kifo ky’obubaka bwa palamenti obwa Kira Municipality.

Waliwo ekipande Musisi n’enkambi ye kye bagamba nti si kitongole era si kituufu ekyafulumiziddwa nga kiraga nga bw’agenda okuvuganya Ssemujju wadde mbu kino si kituufu. Enkambi ya Musisi egamba nti omubaka wa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke y’ali emabega wa bino n’ekigendererwa eky’okusiiga omuntu waabwe enziro oluvannyuma lw’okuvaayo n’amwolekeza obuufu ng’agamba nti 2026 agenda kuvuganya ku kkaadi ya NUP.

MP Lulume, Opponent Clash Over UCDA-MAAIF Merger

Ekipande kino kyavuddeyo oluvannyuma lwa Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine okukubibwa akakebe ka ttiya ggaasi e Bulindo mu Kira bwe yabadde ava ewa Musisi ku kabaga wiiki ewedde. ku nsonga eno, Musisi era agamba nti takolanga ku kabaga wabula Kyagulanyi yamukyalira ng’agenze kumusiima olw’emirimu gy’akoledde ekibiina okuva ku ntandikwa yaakyo.

Kyagulanyi yategeezezza nti okuviira ddala ku ntandikwa, waliwo bannamateeka basatu abazze bayiirawo omubiri ekibiina kya NUP, nga Anthony Wameli yagenda tasiimiddwa, kati n’asalawo okusiima Musisi ng’akyali mulamu.

Ng’ayogera, Musisi yagugumbudde bannabyabufuzi naddala abaludde mu bifo eby’enjawulo abagufudde omugano okutema enteega z’abavubuka abato abavuddeyo okuyingira eby’obufuzi nga batidde nti bagenda kubasuuza akagaati.

Okwogera bino, Musisi yasinzidde ku kyalo Kawuga mu Mukono Central Division bwe yabadde yeetabye ku kabaga k’amazaalibwa g’omukyala Gertrude Katende kwe yajagulizza okuweza emyaka 60 ng’ekuyege zikyamukubira enduulu.

Ono yasabye abantu bonna abakuliridde mu by’obufuzi okukkiriza okudda ebbali bawe ekyanya abavubuka okuweereza mu biro byabwe ku lw’obulungi bw’ebiseera by’eggwanga Uganda eby’omumaaso.

Omubaka Nabukeera ng’ayogera.

“Tuwulidde ebbanga ddene ng’abantu boogera ebigambo ebimalamu amanyi n’okulwanyisa buli muvubuka ayagala okuyingira ekisaawe ky’eby’obufuzi, kino kikyamu kubanga kiremesa abantu okufuna omwaganya okuweereza mu biro byabwe ekintu kye tutagenda kukkiriza” Musisi bwe yakkaatirizza.

Yagenze mu maaso n’alabula Bannamukono naddala abavubuka okwewala okutwalibwa bannakigwanyizi mu kalulu akabindabinda nga balonda abakulembeze abasobola okubeera abeesigwa era abawulize eri ababalonda.

“Mu munisipaali y’e Mukono tuwulidde ebigambo okumala ebbanga ddene, kati kiseera kya kukola tuve mu bantu abalowooza nti eby’obufuzi katemba era tusaba mutwesige mu kalulu akabindabinda okuleeta enkyukakyuka eyannamaddala,” Musisi bwe yasabye.

Court Reinstalls Dr. Walusansa as Uganda Cancer Institute Deputy Director

Omubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Mukono Hanifah Nabukeera yasabye bannabyabufuzi okusingira ddala abali ku ludda oluvugannya okukkiriza bavuganyizibwe mu mirembe awatali kutiisatiisa ba beesimbyeko nti kye kyoka ekijjayo ekinyusi kya ddimokulasiya gwe balwanirira.

“Ebbanga lyonna tubadde tuwanjagira democracy, kati ffe mu kibiina kya NUP tewali munene era ffena tukirize bwe wabeerawo ayagala ekifo avuganye awatali kutiisibwatiisibwa ka mbeere nze nga waliwo ayagala ekyange, awulira ng’amaanyi aggye butwefuke anaayitamu gwe tunaawagira,” Nabukeera bwe yagambye.

Gertrude Katende, abadde omujaguza omukulu yeebazizza Katonda olw’emyaka 60 gy’amuwangaazizza wabula n’alaga okunyolwa olw’abaana ab’obuwala abasusse okusuula abaana be bazaala nti kyabulabe eri eggwanga.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!