Museveni Tuwe Abaami Baffe Naffe Tweyagalire mu Lunaku Lw’abakyala

1 minute, 16 seconds Read

Bya Abu Batuusa

Abakyala mu kibiina ky’eby’obufuzi ekya National Unity Platform (NUP) bagaanye okwegatta ku mukolo emitongole egy’eggwanga egy’okukuza olunaku lw’abakyala olw’ensi yonna.

Bano bagamba nti kyandibadde kya bwewussa okwegatta ku bijaguzo bino nga bakyala bannaabwe ne gye buli eno bali mu makomera gye bavundira, n’abalala abali mu buwambwe abatamanyiddwako mayitire nga bwe gutyo bwe guli ne ku bannyinaabwe bangi ssaako babba baabwe.

Bano bakozesezza olunaku luno okukungaana ne basaba gavumenti ya NRM ekulemberwa Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta okwekuba mu kifuba ate abaana ba banne abali mu makomera n’abali mu buwambwe abaakwatibwa olw’eby’obufuzi nga tebalina musango mulambulukufu gwe bazza.

Emikolo gy’eggwanga egy’okukuza olunaku lw’abakyala emitongole gikuziddwa mu disitulikiti y’e Katakwi.

Abakyala bano aba NUP beegattira mu kibiina ki SHE UNIT nga bakulembeddwa Sylvia Namutya ssentebe w’abavubuka mu NUP bagamba olunaku luno lwandibaddemu omulamwa wabula okusinziira ku mbeera abakyala gye bayitamu tebasobola kwetaba mu bikujjuko byakulukuza.

Ruth Nabadda nga y’omu ku bakyala babba baabwe abaakwatirwa ne baggalirwa ewatali musango agamba okuva bba Muwanga Martin Owen bwe yakwatibwa bayita mu kusomoozebwa okutagambika nga n’eky’okulya bawamma kiwamme nga tekigasa kujaguza kyokka nga basula njagala.

Bano nga banekedde mu migyoozi emiddugavu bagamba nti mu kifo ky’okujaguza olunaku luno basazeewo kukungubaga olwa bannaabwe abazenga bakwatibwa ku nsonga z’eby’obufuzi.

Ate bbo abakyala abakolera mukatale ke Gganda bagamba embeera gyebayitamu yabugubinnyo omuli emisolo egiyitiridde kubintu byebeyambisa mubulamu obwabulijjo.

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!