Ssekiboobo Atuuzizza Omwami wa Kabaka Ow’omuluka gw’e Mpoma

4 minutes, 20 seconds Read

Omumyuka asooka owa Ssekiboobo David Kato Matovu atuuzizza n’okulayiza Omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Mpoma II ogusangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono.

Sylvia Kyowa Kyobe y’atuuziddwa wakati mu mukolo ogujjudde essanyu, emizira, engoma n’amazina nga bino bisaanikidde ebyalo okuli Mpoma n’e Kisowera.

Mituba Ena Vincent Matovu ng’awaayo Kyowa eri omumyuka wa Ssekiboobo asooka David Matovu (mu kkono).

Omumyuka wa Ssekiboobo nga ye mwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Matovu asinzidde ku mukolo guno n’alagira abaweereza mu bitongole by’obwa Kabaka ku mitendera egy’enjawulo okufuba okuteekawo enkolagana ennungi ne baaweereza bannaabwe aba gavumenti eya wakati basobole okukulaakulanya ebitundu gye baweerereza n’abantu ba Kabaka.

Matovu agambye nti abakulembeze ku mutendera gwa Buganda n’ogwa gavumenti eya wakati bonna baweereza abantu be bamu n’ebitundu bye bimu nga bwe bakwatagana baba basobola okuyamba abantu be bakulembera okukulaakulana n’ebitundu byabwe ne bisobola okugenda mu maaso.

Okusaba kuno, Ssekiboobo abadde ku kyalo Mpoma ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kutuuza omwami wa Kabaka ow’omuluka Mpoma 2, Sylvia Kyowa Kyobe.

Ssekiboobo David Matovu ng’atuuza Kyobe ng’ow’omuluka gw’e Mpoma II.

Ono omukolo guno agukoze n’atwala eggombolola ya Mituba Ena Kauga, Vincent Matovu. Emikolo gitandise na Kyobe kuteeka mukono ku birayiro oluvannyuma n’ayimirira mu kisasi ky’ennyumba ye n’akuba ebirayiro.

Kyobe beeyamye okubeera owumulize eri Obuganda, Kabaka, Katikkiro ne Ssekiboobo ssaako okukuuma ebyama by’embuga n’okukola ebyo ebitwala Buganda mu maaso.

Ono era alayiziddwa n’abakulira ebitongole eby’enjawulo ku muluka nga ye omumyukawe kitegeerekese nga mulwadde bwatyo tasobodde kubeerawo.

Ssekiboobo Matovu agambye nti wadde nga gavumenti eya wakati erina ensimbi ezikola pulojekiti ez’enjawulo n’abaami ba Kabaka nabo batuuka butereevu ku bantu nga ne bye babagamba babikola nga n’olw’ekyo alagidde abaami ba Kabaka okulaba nga bakunga abantu be bakulembera okwenyigira mu nteekaateeka za gavumenti ya wakati ez’okwekulaakulanya omuli PDM n’endala.

Ow’omuluka Sylvia Kyobe ng’agabula Ssekiboobo entaba luganda.

Wabula Matovu alaze okunyolwa olw’ettaka lya Kabaka eritakyaliwo n’agamba nti kino kibakoze bubi nnyo ng’ebitawuluzi ng’eby’emiruka abaami ba Kabaka mwe baakoleranga emirimu byonna tebikyaliwo.

“Olwaleero nga bwe mulaba, Kyobe tumutuulizza mu maka ge era gano ge tutongozza ng’embuga y’omuluka gwa Mpoma II. Nsaba abantu abalina omutima omulungi era abagabi, mujje mukwate ku ttaka lyammwe muwe Kabaka tuzimbeko embuga ze abaweerezaa be basobole okukoleraamu emirimu,” bw’asabye.

Omwami wa Kabaka akulembera eggombolola ya Mutuba 4 Kawuga Munnalotale Vincent Matovu Bintubizibu asinzidde ku mukolo guno n’alabula abantu abalondebwa mu buweereza nti bakomye enjogera oba eng’ombo agamba nti okulya obwami obeera ogudde mu bintu ky’agambye nti eno njogera nkyamu ebatuusa n’okulemererwa okuweereza ssinga ebintu bye baba basuubira okufuna bibabula.

Ow’eggombolola ya Mituba IV Kauga, Vincent Matovu ng’ayogera.

“Nze ngamba nti okukuwa obukulu oba ogudde mu buvunaanyizibwa ng’era ekikusuubirwamu kwe kuweereza. Tukwatire wamu nga tukulemberwa aabaweerezaa ba Beene tukole okulaba nga Bugandaa tugizza ku ntikko nga tutandika n’ebyalo byaffe, emiruka, amagombolola, amasaza olwo ne Buganda lw’eggya okusobola okudda ku ntikko,” Matovu bw’abakoowodde.

Abazinyi ba Nkwenge Cultural Troupe nga basanyusa abantu.

Ye ow’omuluka Kyobe agambye nti waakussa nnyo essira ku by’obulamu, eby’enjigiriza wamu n’okuteeka abavubuka ku mwanjo mu buweereza bwe.

Carolyn Nanyonjo nga y’amyuka ssentebe w’eggombolola y’e Nama ategeezezza nti kituufu ddala Kabaka ye Maaso Moogi olw’okulengera obulungi Kyobe gw’ayogeddeko ng’omuweereza omulungi.

“Kyobe atuweerezza bulungi mu gavumenti eya wakati nga yaweereza nga kkansala omukyala ow’eggombolola yaffe era bingi bye yatusakira. Tumulinamu essuubi nti agenda kukola kye kimu ate ne ku mutendera guno ng’ow’omuluka guno ogw’e Mpoma II,” Nanyonjo bw’ategeezezza.

Ssekiboobo Matovu Kato, Sylvia Kyobe, ow’eggombolola ya Mituba IV Kauga Vincent Matovu, n’abalala mu kifaananyi ekya wamu.

Charles Nkugwa nga wa Mutuba mu kika Kyobe mw’ava asiimye era ne yeeyanza Kabaka olw’okulengera muzzukulu waabwe Kyobe n’amuwa okumulamulirako omuluka gwe.

“Muwala waffe Kyobe tukulinamu essuubi ddene nnyo, tukimanyi nti ogenda kuweereza bulungi togenda kutuswaza. Ate nno nkakaasa nti obukulembeze Kyobe yabujja ku lubaya, anti ne maamawe Mary Nagawa naye yaweereza ekitundu kye kimu kino nga ssentebe w’ekyalo ky’e Kituba okumalira ddala ebbanga ddene nnyo, n’olw’ekyo teri nsonga egaana Kyobe kuweereza bulungi nnyo n’okusingawo,” Nkugwa bw’ategeezezza.

Ow’omuluka gw’e Mpoma Kyobe ng’akwasa Ssekiboobo Matovu amantambutambu (ebirabo), ku ddyo, Ow’eggombolola ya Mituba IV Kauga Vincent Matovu.
Ow’omuluka gwa Mpoma Sylvia Kyobe ng’ayogera.
Abagoma aba Nkwenge Cultural Troupe nga basanyusa abantu.
Ssekiboobo Kato Matovu ne Kyobe mu kifaananyi.
Omwana ng’azina aamazina Amaganda okusanyusa abagenyi.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!