Eyabadde kalabaalaba w’okulonda kuno, nga y’atwala eby’okulonda kwa NRM mu Greater Mukono, Samuel Eyenga, yalagidde okulangirira ebyavudde mu kulonda ku kifo kino okuyimirizibwa.
Okulangirira omuwanguzi wakati w’abaavuganyizza mu kamyufu ka NRM okufuna anaakata bendera ya NRM ku kifo ky’omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono kukyajulidde.
Kiddiridde okukwatibwa kw’eyakuliddemu okulonda kwa divozoni y’e Goma Joseph Sulume, nga kigambibwa nti yabadde yeenyigidde mu mivuyo gy’okukyusakyusa ebyavudde mu kulonda ng’ayamba om uku baabadde beesimbyewo, Andrew Ssenyonga.
Amaziga mu kulonda kwa NRM e Mukono-poliisi ekubye omu ku bavuganya Ssenyonga bubi nnyo!!!
Eyakuliddemu okulonda kwa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Stephen Nakabaale, yategeezezza ab’eby’okwerinda nga Sulume bwe yabadde yeebulankanyizza okuva okulonda lwe kwawedde ng’okumala essaawa eziwera, yabadde n’essimu ye teriiko nga bamunoonya tebamulaba.
Kyaddaaki, ono yasobodde okutuuka mu kifo mwe baabalidde obululu obwavudde mu disitulikiti yonna ku Mukono Youth Centre nga zoolekedde okuyingira ssaawa emu.
Ono oluvannyuma lw’okuwaayo bye yabadde akungaanyizza okuva e Goma, abasirikale ba poliisi baamulabirizza ne bamuggyawo ne bamutwala ku poliisi y’e Mukono ne bamuggalira.
Eyabadde kalabaalaba w’okulonda kuno, nga y’atwala eby’okulonda kwa NRM mu Greater Mukono, Samuel Eyenga, yalagidde okulangirira ebyavudde mu kulonda ku kifo kino okuyimirizibwa.
Mukono NRM Candidate Attempted to Steal Guns from Police, Says Deputy RDC
Olwa leero, abakulu mu kibiina kya NRM e Mukono, ab’eby’okwerinda n’amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante bakedde kwevumba kafubo akatudde mu ‘boardroom’ ku woofiisi ya RDC w’e Mukono, ssaako enjuyi ez’enjawulo ezaabadde zivuganya ku kifo kino ng’oluvannyuma lw’ebbanga nga baliko bye bamulungula, bavuddeyo Eyenga n’ayogera eri ab’amawulire.
Eyenga agambye nti batudde mu lukiiko n’enjuyi ezaavuganyiiza mu kalulu kano ne bakkaanya okulangirira ebyavudde mu kulonda kuno kugire nga kukyayimiriziddwa ng’ensonga bwe bongera okuzeekenneenya.
Oluvannyuma lwa Ssenyonga okukitegeera nti Sulume yabadde akwatiddwa, yakunze abawagizibe abaabadde ku Youth Centre ne bagenda ku poliisi y’e Mukono okumanya ogwabadde gumukwasizza.
Eno Ssenyonga tebyamugendedde bulungi, abasirikale ba poliisi bwe baamuguddeko ekiyiifuyiifu n’abawagizibe ne babakuba emiggo n’ensamba ggere ne babaleka nga bazirise tebakyamanyi na biri ku nsi.
Kibuule, Ssekitooleko ne Nakavubu Bawangudde Akamyufu ka NRM
Ono ng’ali ne mugandawe, kkansala ku disitulikiti baatwaliddwa ku ddwaliro lya Mukono Church of Uganda nga biwala ttaka, ng’abasawo oluvannyuma lw’okubalemererwa olw’embeera yaabwe eyabadde yeeyongera okubeera obubi, baasazeewo okubongerayo mu ddwaliro e Nsambya nga ne gye buli eno obulamu bwabwe tebunnatereera.
Na bwe kityo, embeera e Mukono esiibye ya bunkenke mu bawagizi ba Ssenyonga nga bavumirira poliisi okukuba abakulembeze okubatuusa ku ssa lino.
Wabula, amyuka RDC w’e Mukono Hassan Kasibante yategeezezza ab’amawulire nti Ssenyonga yalumbye poliisi mu kiro ssaawa nnya n’abawagizi be abali eyo mu kikumi nga balina n’ebiso, emiggo mbu nga bagenze kubba mmundu n’okukuba abasirikale nga nabo kwe kwelwanako.
Kasibante yalabudde Ssenyonga n’abantu abalala bonna obutageza kwetantala kuyingiza byabufuzi mu poliisi n’ab’eby’okwerinda abalala n’agamba nti kino kye baakoze musango gwa nnaggomola.
Deputy DHO Abandons Routine Duties as Bribery Scandal Disrupts Mukono Health Office
Embirannye yabadde wakati wa Dr. Sarah Daisy Ssonko Nabatanzi ne Ssenyonga nga buli ludda n’okutuusa olwa leero lulaga ng abwe lwawangudde akalulu.
Gye biggweredde, Eyenga ng’ategeezezza nti ensonga z’akalulu kano bazijulizza w’akulira okulonda kwa NRM mu Uganda, Dr. Tanga Odoi nga y’aggya okusalawo ekinaasembayo.
“Twetondera Bannamukono, kuba bbo baalonze bulungi, obuzibu ate ne buva mu ffe abateesiteesi b’okulonda kuno. Naye tugenda kukola ekisoboka okulaba ng’embeera tugigonjoola,” bw’annyonnyodde.
Eyenga era asabye Bannamukono okusigala nga bakkakkamu okutuusa ng’akakiiko akagenda okutunula mu nsonga eno katuuse.