Fr. Benedict Mugerwa akulira abavubuka mu Krezia owa Uganda yonna ne Canon Goeffrey Kagoye ow’obusumba bwa St. Dunstan e Mukono nga basitudde omusaalaba. Bano baasimbudde Wantoni ne beetooloola ekibuga Mukono.

Okutambuza Ekkubo Ly’Omusaalaba Kujjumbiddwa e Mukono

1 minute, 54 seconds Read

Ng’ayogera eri abakkiriza, Canon Kagoye abategeezezza nti okutambuza ekkubo ly’omusaalaba tebasaanidde kukikola nga kinyumo naye balikozese okukyuka bave mu bikolwa eby’obubbi, obulyake n’agamba nti eky’ennaku kwe kuba nti abamu beejajaamya ne batunka n’okwetunda nga tebabaliridde mibiri gyabwe.

Betty Nambooze Bakireke, omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono ng’akulembeddemu bannabyabufuzi abalala okutambuza ekkubo ly’omusaalaba e Mukono.

Eby’entambula mu kibuga Mukono bikedde kusannyalala ng’ebibinja by’abakkiririza mu Kristu okuli Abakulisitaayo n’Abatakatoliki bakungaanye okutambuza ekkubo ly’omusaalaba ku Lwokutaano Olutukuvu.

Ekimu ku bibinja ebitambuzza ekkubo ly’omusaalaba kisimbudde Wantoni oluguudo olugenda e Katosi we lutamndikira. Fr. Benedict Mugerwa, chaplain w’abavubuka Abakatoliki mu Uganda y’akulembeddemu Abakatoliki sso ng’Abakulisitaayo bbo bakulembeddwamu Rev. Canon Geoffrey Kagoye omusumba w’obusumbwa bwa St. Dunstan mu busaabadinkoni bw’e Nassuuti mu bulabirizi bw’e Mukono.

Brain Tumour Causes Boy to Lose Sight, Father Flees

Omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke ng’asitudde omusaalaba gwe.

Bano batambudde okuva e Wantoni ne bagenda ku St. Dunstan ne batooloola, ne bayita mu katale ka Kame Valley, ku ppaaka ya ttakisi e Mukono ne bayolekera okutuuka ate ku Klezia ya St. Paul gye balifundikiridde.

Ng’ayogera eri abakkiriza, Canon Kagoye abategeezezza nti okutambuza ekkubo ly’omusaalaba tebasaanidde kukikola nga kinyumo naye balikozese okukyuka bave mu bikolwa eby’obubbi, obulyake n’agamba nti eky’ennaku kwe kuba nti abamu beejajaamya ne batunka n’okwetunda nga tebabaliridde mibiri gyabwe.

Ate Fr. Mugerwa bano abasabidde basobole okufuna mu kkubo ly’omusaalaba lino baleme kuliviiramu awo.

Abakkiriza okuli Abakulisitaayo n’Abakatoliki e Mukono nga batambuza ekkubo ly’omusaalaba. Wano nga bayita mu Kikko mu katale.

Ate omubaka wa palamenti owa munisipaali y’e Mukono, Betty Nambooze Bakireke naye aliko obubaka bw’ayisizzaawo n’asaba abakulembeze b’enzikiriza okusabira eggwanga mu kikemo kye lyolekedde mu nteekateeka gavumenti gy’eyagala okukyusa etteeka ly’amagye ekigenda okukontana ne ssemateeka w’eggwanga.

Nambooze era yeesammudde ne yeegaana nti ye si y’omu ku babaka abaatutte ensimbi obukadde 100 n’asaba gavumenti okulowooza ennyo ku kusasula abakozi omuli abasirikale, abasomesa n’abalala mu kifo ky’okufa ennyo ku bababaka ba palamenti ate abasasulwa obulungi ennyo.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!