Owa poliisi ng'agezaako okwogera ne RDC Sarah Kiyimba.

RDC Eyeeyisizza Ng’atamidde Awuniikirizza Abatuuze, Ataamidde Aba Prison ne Poliisi 

2 minutes, 42 seconds Read
RDC Sarah Kiyimba ng’ayogera n’omusikale w’amakomera gwe yasabye nga tannayogera naye asooke kumukubira ssaluti.

Omubaka wa Pulezidenti mu distulikiti y’e Rakai yafuuse emboozi era ekisekererwa olw’engeri gye yalabise ng’azze okutawulula abeekalakaasi.

Sarah Kiyimba nga ye mubaka wa gavumenti (RDC) e Rakai, yamazeeko abalabi ebyewungula bwe yazze ng’atagala, ng’awunya k’alidde era ng’awoggana mu ngeri eyamulabisizza ng’ekitagasa bwe yabadde ayogera eri abantu abaabadde beekalakaasa n’ab’eby’okwerinda omuli aba poliisi n’abasirikale b’amkomera.

Obuzibu bwasimbuse ku kuteebwa kw’omutuuze Sulait Ssessimba eyabadde avunaanibwa ogw’okwetaba mu bubbi bwa bodaboda z’abavubuka abalala nga bano tebakoma ku kubabbako pikipiki zaabwe kyokka wabula kiteeberezebwa nti n’okuttibwa battibwa kuba ne gye buli eno baabulako n’amayitire.

Kino kyasiikudde emmeeme z’abatuuze b’oku kyalo Kinaawa mu ssaza ly’e Buyamba, ne balumba woofiisi ya RDC nga balaga obutali bumativu bwabwe.

Bano baagambye nti Ssessimba azze akwatibwa poliisi emirundi egiwera naye ng’ateebwa mangu mu ngeri etategeerekeka.

Wakati mu kwekalakaasa kwabwe, RDC Kiyimba we yatuukidde okwogera nabo naye nga tatereera ku ttakka, ng’ebigambo abiggumiza, nga ayenjebuse era nga bangi we baasiinzidde okulowooza nti osanga yabadde alina w’ayitidde n’asooka ayiwamu nga n’olw’ekyo, ono ku mutwe yabadde akongozze omumbejja Nnamaalwa.

Kyokka n’ennyambala y’omubaka wa gavumenti ono nayo yalese bangi nga boogera obutonotono anti yabadde mu kiteteeyi kya ‘One Arm’ ng’alinga gwe baggye mu biseera bye eby’eddembe ng’era n’engeri gye yabadde atunulamu, nga ddala alabika aliko ekimuli ku mutwe!

Wadde ng’embeera yabadde bw’etyo, abatuuze bagamba nti yabakakasizza nti Ssessimbwa ssi wa kuyimbulwa wabula nga wakusigala mu nkomyo okutuusa ng’amateeka gakutte ekkubo lye galina okutambuliramu.

Wabula RDC okuyingira mu nsonga kirabika nga kyavuddemu amakulu kubanga Ssessimba yaleeteddwa mu maaso g’omulamuzi ow’eddaala erisooka Vivien Raphael n’asomerwa omusango gw’okunyagisa eryanyi, era oluvanyuma n’asindikibwa ku limanda.

RDC Sarah Kiyimba nga bwe yabadde afaanana.

Wabula abatuuze era tebaabadde bamativu kubanga bbo bagamba mbu Ssessimba azze atemula b’abbako pikipiki naye nga ku misango egyamusomeddwa ogw’obutemu tegwabaddeko. Baasigadde poliisi n’ekitongole ekikola ku kubuuliriza ku misango mu kitundu kino olw’okukola gadibe ngalye ekikuumidde abamenyi b’amateeka mu bantu ng’emisango ekika kino bwe gituuka mu maaso g’abalamuzi gibaamu ebituli ekireetera abamenyi b’amateeka okwejjeerera ne bayimbulwa ne batandikira we baba baakoma.

Wabula omukungu ono bwe yagezezzaako okuyingira mu kkooti, abaserikale ne bamutangira, mu kubaddamu n’abalagira nti nga tebannayogera naye, baabadde balina okusooka okumukubira ssaluti nakyo bwe kyaganye, n’abaviira n’agenda mu ssungu eringi.

Gen. Muhoozi Bans Selling of Kenya’s The Standard Newspaper in Uganda

Kino bwe kitaamumalidde, yazzeeyo eka n’akyuusa olugoye, n’alumba poliisi n’abalagira okuta abasajja babiri abaabadde bakwatiddwa olw’okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa; okusooka abaserikale baalowoozezza nti bayinza okumukkirizisa okuva ku nsonga naye bwe baakubye amasimu wano na wali, abasajja baateereddwa.

Aba poliisi baamwegayiridde naye n’abajjukiza nti y’akulira eby’okwerinda era oluvanyuma n’awangula. Abatuuze bo beetemyemu ng’abamu beebuuza nti kya buntu omukungu wa gavumenti okubeera ku mirimu ng’atamidde? Wabula abalala nga bamutendereza olw’okulemera ku nsonga n’akkakkanya embeera eyabadde esajjuse.

RDC Suspends Swimming Lessons in Schools to Prevent Mpox Spread

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!