Eky’okuba munnakibiina kya NUP, Sipiika wa disitulikiti y’e Mukono, Betty Hope Nakasi tekimulobedde kwambalira munnakibiina munne, Bernard Ssempaka akiikirira ab’e Nakifuma mu kkanso ya disitulikiti y’e Mukono nga n’entabwe kw’eva kwe kugenda mu kkanso ng’ayambadde akakofiira ka NUP akamanyiddwa nga ‘beret’.
Ng’akubiriza kkanso, sipiika Nakasi nga naye munnakibiina kya NUP yategeezezza nti kibi nnyo abantu okulaga obuwagizi n’obwagazi bw’ekibiina ne balowooza nti be basinga abalala ne batuuka n’okukola bye bakola we bitasaanidde.
Kill Me, Spare Besigye Women Activists Granted Bail After Weeks in Prison
Ebigambo bya Nakasi nga bwe yabisengese…
“Naye ba disitulikiti kansalas, twongere okweteekamu ekitiibwa eky’okutuyita ba disitulikiti kkansalas, eky’okweteeka mu levo z’ab’amagombolola tukyeggyemu.
Kkanso tugirangira ebbanga, ne twetegeka nnyo ne tuyomba ne ku mikutu lwaki tetutuula mu kkanso. Bwe tuba tujja mu kkanso, twambale ng’abakulembeze abasaana disitulikiti. ‘Unfortunately’ (eky’ennaku) kkansala Ssempaka tali mu house kati, much as tuli mu partisan politics, aba NUP, ne mujja n’obukoofiira mu kkanso, kiraga nti muwagira nnyo, but is it the dressing code as highlighted by law?
Mufti Mubajje, College of Sheikhs Dragged to Court Over His Re-election
Twayisa amateeka ge tuyita standard rules of procedure, we agreed on the decent dressing, is it what we are practicing, is it what we are doing? Next council, tukiteekeyo buli omu aggye ng’ayambadde ng’ekibiina kye bwe kimugamba? Much as tuli mu partisan politics, naye bwe tuba tuzze, mu august house eno, okusalawo ku lwa disitulikiti ya Mukono, lets dress as honorables.
Abaami mulekere awo okwambala bu jackets, mwabale coats, mwambale ebintu ebituweesa ekitiibwa. Abakyala twefubyeko, twefubyeko abakyala, era if I happen to give credit ku bantu abasinze okwambala obulungi omwaka guno, the ladies take it.
So abaami, mwerwaneko, engoye ate ez’abaami za ssente n tono okusinga ez’abakyala… ha ha ha ha (enseko)
Thank you very much, ekyo ndowooza mukitutte mu mutima mulungi. Bannaaye we are a district council, bwe tuteewe kitiibwa nga disitulikiti, teri agenda kutuwa kitiibwa nga disitulikiti.”
Wadde nga bino okubyogera kkansala Ssempaka yabadde afulumyemu, ono gye yabadde amawulire gaamutuseeko era we yakomeddewo mu kkanso yabadde aggyemu akakofiira.