Isaac Ssemakadde, pulezidenti w'ekibiina ekigatta bannamateeka ne Kiryowa Kiwanuka, ssaabawolereza wa gavumenti.

Ssemakadde Emirimu Agitandise na Maanyi-Agobye Ssaabawolereza wa Gavumenti ku Lukiiko

0 minutes, 40 seconds Read

Pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamateeka mu ggwanga ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde emirimu agitandikidde mu ggiya nnene. Ssemakadde yagobye Ssaabawolereza wa gavumenti, Kiryowa Kiwanuka ne ‘Solicitor General’, Francis Atoke ku lukiiko lw’ekibiina kino wamu n’ababakiikirira.

Okusinziira ku bbaluwa gye yafulumizza akawungeezi k’eggulo ku Mmande, Ssemakadde alumiriza Kiryowa Kiwanuka okufutyanka akalulu k’Obwa pulezidenti bw’ekibiina kino (ULS) akaakaggwa ye kennyini Ssemakadde ke yawangula.

Bp. Kagodo Hails Directors of Mukono Parents High School as it Celebrates 25 Years of Existence

Ono era avunaana Kiryowa Kiwanuka okugaana okuyimiriza kkampuni ye ey’amateeka oluvannyuma lw’okulondebwa ku bwa Ssaabawolereza wa gavumenti, okufiiriza Gavumenti ensimbi eziri mu buwumbi n’emisango emirala gy’agamba nti yagizza nga yeekobaanye ne banne bwe bagobeddwa.

Ye Ssaabawolereza wa gavumenti Kiryowa Kiwanuka ne banne bwe bakwatiddwa ku nkoona tebannavaayo kwanukula kugobebwa kwabwe era kye bazzaako tekinnategeerekeka.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!