Pulezidenti omuggya ow’ekibiina kya bannamateeka ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde oluvannyuma lw’okuwangula ekifo ky’abadde ayayaanira mu ggandaalo lya wiikendi, akyaddeko e mbuga ku Bulange e Mengo, ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda.
Ssemakadde afunye omukisa okusisinkana ku Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’ono yeeyamye okutambulira awamu n’Obwakabaka mu nteekateeka z’obukulembeze bw’abavubuka.
Ssemakadde agambye nti abavubuka beetaaga okuteekebwateekebwa era mwetegefu okwenyigira mu kaweefube ono.
Obweyamo buno, Isaac Ssemakadde abukoledde mu maaso ga Katikkiro Charles Peter Mayiga e Bulange – Mengo ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze b’ekibiina ki Nkobazambogo abaggya.