Mu buufu obw’okutumbula ebitone bya bamusaayi muto, Omubaka wa palamenti ow’ebizinga by’e Buvuma Robert Migadde Ndugwa ayiye omusimbi mu mwana Jesse Musubo omuyimbi era omuzinyi. Omubaka Migadde agulidde musaayimuto Jesse ennyimba bbiri ezaawandiikiddwa omuwandiisi ow’erinnya abasinga gwe bamanyi nga 14 K Bwongo n’amusasulira ne studio ey’erinnya mu Kampala n’abiteekamu engatto n’agenda alikoodinga ennyimba ze. Omubaka […]