“Omulambo gwa Nakazibwa gwasangiddwa nga gutandise okuvunda kyokka ng’abatemu baamufunya nga bamusibye amagulu n’emikono ne bamuziika mu kinnya oluvannyuma lw’okumutta,” Mubiru bwe yategeezezza. Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze bwe bafunye amawulire g’okuttibwa kwa mutuuze munnaabwe abadde omusuubuzi ng’ono yawambibwa abazigu gye buvuddeko ne batandika okukuba amasimu nga bakanda ab’enganda ze ensimbi akakadde kalamba. Eby’embi, ensimbi zino zaabuze […]