Buddu Ewangudde Kyaggwe mu Mpaka Z’Amasaza 2024

Essaza lya Buddu liwangudde ery’e Kyaggwe mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2024. Omuzannyi Micheal Walaka y’ateebedde Buddu ggoolo emu yokka mu kitundu ekisooka, ng’eno gye bazibidde okumalako eddakiika 90. Essaza ly’e Buddu lyakawangula ekikopo ky’Amasaza emirundi kati esatu ng’ogwasooka gwali gwa 2016, 2021 ne 2024. Ddyo essaza ly’e Kyaggwe guno gwe mulundi gwe lisookedde ddala […]

Kabaka Asiimye Okubeera e Namboole mu Gw’Amasaza Nga Kyaggwe Ettunka ne Buddu

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okggulawo omupiira gw’amasaka ng’amasaza okuli Kyaggwe ne Buddu geemala eggeyangana mu ffayinolo y’Amasaza ga 2024 eyindira mu kisaawe e Namboole. Abantu ba Kabaka ababemberedde mu kisaawe kyonna babuze okufa essanyu emizira ne gisaanikira ekisaawe kyonna nga balaba ku Mpologoma. Mu kiseera kino omupiira guno gumaze okuggyibwako […]

Kitalo! Munnamawulire Omulala Afudde, Ono W’e Masaka mu Buddu!!!

Ng’eggwanga likyali mu kiyongobero eky’okuviibwako eyali omusomi w’ebirango kayingo ku leediyo ez’enjawulo okuli Leediyo Uganda, CBS ne Super FM, Ssaalongo John Ssekandi eyafa ku Mmande n’aziikibwa Ku Lwokusatu lwa wiiki eno, ate ekisaawe ky’amawulire kiguddemu ekikangabwa ekirala. Munnamawulire wa Radio Star abadde agasakira mu bbendobendo ly’e Buddu, Fred Musisi naye afudde! Musisi abadde atawanyizibwa obulwadde […]

Kyaggwe Ya Kuttunka na Buddu ku Ffayinolo Z’amasaza e Namboole

Ffayinolo y’omupiira gw’amasaza 2024 yakunyumira abalabi e Namboole nga batabani ba Ssekiboobo ab’essaza Kyaggwe battunka n’aba Ppookino ab’essaza ly’e Buddu. Bannakyaggwe bawera nkolokooti nti Buddu bukyanga erya myungu, leero eridde butanga, anti mbu Katonda waabwe abavuddemu, katisa abasudde ku Bakunja, eby’okubala ekikopo eky’okuna kye kiseera babifuuwe ku nninga kuba bbo luutu eno ne Katonda waabwe […]

Kabaka Alambudde ku B’e Kyotera ne Bafa Essanyu

Empologoma ya Buganda, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II awadde abantu be ab’e Kyotera mu ssaza lye ery’e Buddu essanyu bw’asiimye n’abalambulako. Kabaka bano abatuseemu nga tebamanyi ne bamwekanga bwekanzi olwo buli omu n’ava ku by’abaddeko nga n’abamu kye babadde baaba nga tebakikkiriza. Magulunnyondo, Cuucu, Lukoma Nnantawetwa bano abadde abawuubirako nga n’abamu asiimye n’abasikako mu mikono, […]

Buddu Eyongedde Okuvuya mu Gy’amasaza-Bugerere Eginyiyizza Endiba

Amasaza ag’enjawulo gakyagenda mu maaso n’okweriisa enkuuli mu mupiira gw’amasaza 2024 sso ng’ate n’ezikyavuya nazo nnyingi. Erimu ku gakyavuya y’e ttiimu y’essaza ly’e Buddu ng’eno ne gye buli eno ekyavuya. Bannabuddu bakubiddwa essaza ly’e Bugerere ku ggoolo 1-0 nga babadde ku bugenyi. Ng’eno ssande ya kusatu bukyanga empaka z’omwaka guno ziggyibwako akawuuwo, ne bannantameggwa b’ekikopo […]

Ab’e Kyaggwe, Buddu ne Kyaddondo Bakiise Embuga, Oluwalo Lwa Bukadde 35 Lwe Lutikkuddwa

  | KYAGGWE TV | MMENGO | Abaganda baagera nti “akiika embuga amanya ensonga.” Na bwe kityo, Bannakyaggwe abasibuka mu ssaza ly’e Kyaggwe, Bannabuddu abava e Buddu ne Bannakyaddondwa ab’e Kyaddondo baakiise embuga ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda ku Bulange e Mmengo ne batwala oluwalo.  Bano bavuddemu omugatte gwa ssiringi za Uganda obukadde 35 […]

Kitalo! Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda Dr. Donald Muguluma Afudde!!!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’abadde omukiise w’essaza ly’e Kyaggwe mu lukiiko lwa Buganda, Dr. Donald Ddamilira Muguluma.  Dr. Muguluma ng’abadde mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti okumpi n’essomero lya Seeta Junior School Mukono abadde musawo omutendeke ng’alina eddwaliro mu paaka e Mukono n’e Bweyogerere. Amawulire g’okufa kwa Dr. Muguluma gaafulumye […]

error: Content is protected !!