Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakyala okwenyigira mu bifo by’obukulembeze beeyongere okuganyula nnyaffe Buganda ne Uganda yonna okutwalira ewamu. Nnaabagereka obubaka buno abuweeredde ku Golf Course Hotel mu Kampala, mu lukungaana lw’Abakyala abeegattira mu bibiina eby’enjawulo ebirwanirira eddembe ly’Omukyala “Annual Buganda Women Human Rights Defender’s conference” wansi w’omulamwa; “Ssiga mu Mukyala, okulaakulane”, n’ategeeza nti abakyala balina […]
Obuganda buguddemu ekikangwabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika ky’Emmamba, Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37. Okusinziira ku nsonda enneekusifu, Gabunga yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga mu kiro ekikeesezza ku Ssande ku ssaawa nnya. N’okutuusa essaawa eno, omubiri gw’omugenzi gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro lino ng’abakulu mu kika bwe bakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okulaba enteekateeka z’okutereka omubiri […]
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiisidde abavubuka abalumiziddwa kibuyaga atategeerekese gy’avudde bw’abalumbye mu Lubiri lwa Kabaka gye babadde nga bajaguza n’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. Kigambibwa nti kibuyaga ono agoyezza ttenti abantu ab’enjawulo ne balumizibwa era ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo ng’embeera yaabwe si nnungi. Okusinziira ku babaddeyo, embeera eno ebaddewo ng’emikolo ginaatera okutuuka […]
The Minister for Lands, Housing and Urban Development, Judith Nabakooba, has decried the increased forgeries of land documents across the country. This was during the opening of a two-day National Land Policy consultative meeting for Buganda sub-region that was held at Ridar Hotel in Mukono district on Monday. “I have been told six out of […]
Oluvannyuma lwa palamenti ya Uganda okuyisa ekiteeso ekiggyawo ekitongole ekibadde kivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’emmwanyi n’okuzirabirira ekya UCDA, Obwakabaka bwa Buganda buvuddemu omwasi nga bugamba nti wadde byonna bikoleddwa, tebugenda kupondooka ku nsonga y’okukunga abantu mu Buganda n’ebweru waayo okulima emmwanyi. Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda ow’okubiri, Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti tekikyali kya nkiso, […]
Munnabyanjigiriza e Mukono n’emiriraano, Vincent Matovu Bintubizibu atuuziddwa nga Ssekibooboi ku mukolo amatendo ogubadde ku kitebe ky’essaza ly’e Kyaggwe mu Ggulu e Mukono. Omukolo gw’okutuuza Ssekiboobo n’abamyukabe ku lwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga gukoleddwa Minista wa Buganda ow’abavubuka, emizannyo n’ebitone Ssalongo Robert Sserwanga ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki. Ssekiboobo akoze emikolo gy’eby’obuwangwa […]
The Katikkiro of Buganda, Charles Peter Mayiga has dismissed as untrue, claims that Baganda have turned the debate on whether the Uganda Coffee Development Authority (UCDA) should be merged with the mother ministry or not, into a tribal confrontation. “They are now blaming us (Baganda) for allegedly waging a tribal confrontation battle, but sincerely speaking, who ignited the tribal […]
As the debate on whether to merge or not to merge the Uganda Coffee Development Authority (UCDA) with the Ministry of Agriculture, Animal Industry and Fisheries (MAAIF) through rationalization of government agencies and public expenditure (RAPEX) policy rages on, it has ignited far reaching statements from both Buganda and Uganda governments. In the latest development, Buganda […]
The Katikkiro of Buganda, Charles Peter Mayiga is dismayed by the dissolving of the Uganda Coffee Development Authority (UCDA) saying it is a direct punishment to Baganda. “The Kingdom of Buganda has severally advised against scrapping UCDA since it superintends coffee production, upon which nearly two million Ugandan households depend on it,” said Mayiga in […]
Pulezidenti omuggya ow’ekibiina kya bannamateeka ki Uganda Law Society, Isaac Ssemakadde oluvannyuma lw’okuwangula ekifo ky’abadde ayayaanira mu ggandaalo lya wiikendi, akyaddeko e mbuga ku Bulange e Mengo, ku kitebe ekikulu eky’Obwakabaka bwa Buganda. Ssemakadde afunye omukisa okusisinkana ku Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ng’ono yeeyamye okutambulira awamu n’Obwakabaka mu nteekateeka z’obukulembeze bw’abavubuka. Ssemakadde […]