Omuntu bw’akula afuna emize, naye n’omuyimbi Stecia Mayanja alina emize gy’atandise egibadde tegitera kulabikalabika. Bulijjo ng’abayimbi bayimba, batera okusaba ku ccupa z’amazzi ne banywako anti ng’emimiro gibakaze, wabula ye Stecia, abawagizi baamwewuunyizza nga mu kifo ky’amazzi asaba ka caayi. Ka caayi kano bakira kalabika nga kookya bya nsusso, olw’engeri obwedda gy’akasikamu. Wabula ono yeetondedde abawagizi […]