Stecia, Katonda okukuwa abantu bwe bati kitegeeza buwanguzi, Engabo enzira bagirabira ku biwundu, toyinza kugamba nti oli jenero nga tewalwana, kaakati awo wali olwana, ggwe Maurine naawe wali olwana.
Ngabi Nsamba Crowned Champions of Buganda BIKA Football Tournament 2025
Golden Papa Mesach Ssemakula ng’abasinga bwe bamuyita, avuddemu omwasi ku mpalana eri wakati w’abayimbi ba Band abakyala abaayatiikirira ennyo olw’ennyimba z’omukwano okuli Stecia Mayanja ne Maurine Nantume nga bano bamaze akaseera nga tebalima kambugu.
Wadde nga baalinga mu kibiina kimu, omuli Eagles Production, gye baava ate ne bagenda ne Mesach Ssemakula n’abalala mu Golden Band nga Eagles esattulukuse, bano babadde kabwa na ngo okumala ebbanga ddene, ng’empalana ya bano tekoma kumanyika mu bammemba ba bbandi bokka wabula n’abawagizi abamu bagimanyi.
Seeta University Set to Open in August, Enters Link With UK’s Teesside University
Ng’asinziira ku Serena Hotel mu kibuga Kampala, era yajjuzza abantu ne babooga. Oluvannyuma lw’okukuba abantu omuziki, bamemba okuli aba New Eagles nga bakulembeddwa Geoffrey Lutaaya ne Golden Band nga bakulembeddwa Papa Mesach baalinnye ku siteegi nga wano Mesach we yayitidde Nantume ayimirire kumpi ne Stecia nga y’abali wakati.
Mu bigambo bye, Mesach yayogedde bw’ati; “tekisangikasangika okutusanga nga tukungaanye bwe tuti, Stecia kitegeeza oli wa njawulo. Sikugamba nti tetwagala kusisinkana, wabula emirimu ensi yatugabana, oli eno oli eri oli eri. Naye, lwaki ggwe nkuyimirizza wano, naawe ne nkuyimiriza wano (ng’ategeeza Stecia Mayanja ne Maurine Nantume), mu bulamu bwaffe bwe tuba tutambula, tunyiizagana, nnali nnyiizizza ku Mayinja, yali annyiizizzaako, nnali nnyiizizza ku Lutaaya, yali annyiizizzaako, nnali nnyiizizza ku Irene, naye yannyiizaako, wannyiizaako (Stecia), nnakunyiizaako, naawe (Nantume) wanyizaako, Haruna Mubiru yanyizaako ate nnyo ate nga ye na musaayi gwange, ate ate ye nange nnamusonyiwa.
Naye Katonda bw’abayamba n’abakwatako, n’agamba nti wadde mwenyiizizza, mwenna n’abasumulurira ne muyitawo ne mugenda, osonyiwa, weesonyiwa, weerabira… (engalo n’enduulu okuva mu bawagizi).

Baana bange, oba baana baffe, osonyiwa, weesonyiwa, weerabira, ku mumwa n’okijjako. Nja kusaba Hon. Lutaaya, tutegekere yo ekijjulo, tutuule n’abaana bano, n’abalala abatali wano, kubanga ffe ebyabaawo byabaawo mu bulamu ffenna twali twenyiizizza naye twesonyiwa.
Stecia, Katonda okukuwa abantu bwe bati kitegeeza buwanguzi, Engabo enzira bagirabira ku biwundu, toyinza kugamba nti oli jenero nga tewalwana, kaakati awo wali olwana, ggwe Maurine naawe wali olwana. Y’ensonga lwaki ggwe jenero Maurine ggwe jenero Stecia Mayanja. Tusonyiwe, twesonyiwe, twerabire… mukitegedde, nsaba mweweeko haaga nga tuli wano. Enduulu n’emizira…
Seeta University Set to Open in August, Enters Link With UK’s Teesside University
Nze ne bwe siyimba, Stecia ajja kuyimba, kino kikulu nnyo. Ffe ebyaffe byaggwa, ewa Lutaaya nkyama n’ewange akyama. Bwe guli ne ku Mayinja, Irene n’abalala. Mubimaze?”
Stecia oluvannyuma lw’akaseera ng’ali mu kafuba ka Nantume yakutte akazindaalo n’agamba nti “Maurine akaama k’ankubye, ka nkwagale n’awe weewuunye.”
Awo Ssemakula yatandise okuyimba n’oluyimba lwa Jangu tuwaye era ekivvulu ne kiddamu ne kikwata omuliro abawagizi ne bawaga.
President Museveni Awards Roadside Market Vendors With Cash Hand-outs