Gavumenti ng’eri wamu n’abatwala eby’obulamu mu disitulikiti y’e Wakiso bagguddewo mu butongole amalwaliro abiri agaali gaggalwa olw’okuteeberezabwa okubaamu ekirwadde kya Ebola. Kuno kwe kuli eddwaliro lya Saidina Abubaker Health Centre IV e Wattuba ku luguudo lw’e Bombo wamu n’erya Aliimu Medical Clinic e Nansana-Nabweru nga gano gaali gagalwa minisitule y’eby’obulamu okumala akaseera olw’okubeera n’akakwate ku […]