Obuganda buguddemu ekikangwabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika ky’Emmamba, Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37. Okusinziira ku nsonda enneekusifu, Gabunga yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga mu kiro ekikeesezza ku Ssande ku ssaawa nnya. N’okutuusa essaawa eno, omubiri gw’omugenzi gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro lino ng’abakulu mu kika bwe bakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okulaba enteekateeka z’okutereka omubiri […]