Munna NUP Kyembuga Florence K’abala ku Munna NRM Haji Ssemakula Kaliibwa!

Kyembuga avuganya ku kifo eky’obwa kkansala ggombolola erimu mu kkonsituwensi ya Mukono South ng’ayagala kukomawo ku disitulikiti gy’abadde ku kkaadi ya DP. Lukooya, Over 50 Others Nominated for Mukono District Local Gov’t Positions Nga banna NUP ba kakongoliro (Ffuutu Ssooja) bakaaba olw’okummibwa kkaadi okuvuganya ku bifo eby’enjawulo, ye abadde munna DP eyasaze eddiiro okwegatta ku […]

Abawagizi Bagudde mu Lukwe Lwokuwaliriza Eyesimbyewo Okuva mu Kalulu ne Batabuka!

Okuva mu mbeera, kiddiridde okufuna amawulire ng’omuntu waabwe okwevumba akafubo ne ssentebe w’ekibiina mu disitulikiti, Hajji Haruna Ssemakula, amyuka RDC w’e Mukono, Hassan Kasibante n’eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Francis Lukooya Mukoome ng’ono naye avuganya ku kifo kye kimu. Ng’ebula ssaawa busaawa okulonda kw’akamyufu ka NRM ku kifo kya ssentebe wa disitulikiti mu Uganda […]

Ssentebe W’Abasiraamu Asabye Museveni Ayingire mu Nsonga za Mufti Mubajje Okweremeza ku Ntebe

Hajji Ssemakula, nga mu kiseera kye kimu ye ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono omulonde akubidde Sheikh Mubajje omulanga ataase Obusiraamu okuswala, n’agamba nti ebigambo bingi ebyogeddwa ku ye nga Mufti wa Uganda ssaako Obusiraamu okuyita ku mikutu emigatta bantu. Kitalo! Omusajja Afumise Omusuubuzi N’amutta Lwa Kumubanja Ssente Obukadde 18 ze Yamuwola Ssentebe w’Abasiraamu […]

Vvulugu mu Kulonda Kwa NRM e Mukono, Abadde Ssentebe Ssebaggala Adduse mu Kalulu

Ekifo ky’omuwanuka wa NRM nakyo kibaddemu okulya n’okukomba essowaani, oluvannyuma lwa Hajji Umar Ddumba okwekandagga n’ava we balondera ng’okulonda ku kifo kyabwe tekunnatuuka. Police Chief Nixon Agasirwe Arrested, Linked to Joan Kagezi’s Murder Okulonda kwa NRM ku bifo eby’enjawulo kwetoboseemu vvulugu ekiviiriddeko n’abamu ku babadde beesimbyewo okudduka mu kalulu ne beekandagga. Bano bakulembeddwamu abadde ssentebe […]

Okulonda Kwa NRM e Mukono Kukyagaanye Okutandika

Ssebaggala era agamba nti ayagala aweebwe n’olukalala lw’abalonzi bonna naye yeekenneenye abagenda okulonda nga kino kirina kukolebwa ng’okulonda tekunnatandika. Police Chief Nixon Agasirwe Arrested, Linked to Joan Kagezi’s Murder Wadde ng’eby’okwerinda binywezeddwa ku kifo ewagenda okulondera aba NRM mu disitulikiti y’e Mukono, okuli abasirikale ba poliisi n’ab’eggye lya UPDF, abateekateeka okulonda bakyalemeddwa okutandika okulonda kuno […]

Olutalo Lwa Hajji Ssemakula Okusiguukulula Mukamaawe Hajji Ssebaggala-Babiyingizzaamu Emmundu!

Bagamba nti Hajji Ssebaggala y’ali emabega wa kalebule abungeesebwa nti Hajji Ssemakula yasonze emmundu mu Hussein Musambi  omutuuze w’e Kabimbirimu mu ttawuni kkanso y’e Kasawo mbu ng’amulanga okubabega. Sad! Senior Midwife Sarah Katumba is Dead!!! Ng’eggwanga lyolekedde okulonda okumanyiddwa ng’okw’akamyuufu mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, okukuba kampeyini kutabuse okutandikira ku beesimbyewo okuva ku […]

Banna NRM e Mukono Basimbye Mabega wa Hajji Ssemakula

Ate ye Vivian Kalule okuva mu ggombolola y’e Nama yagambye nti bingi bye bafiiriddwa ng’ekibiina olw’entalo ezitaggwa munda mu kibiina, ekintu ky’agambye nti kiyuzizza buyuza mu kibiina, nti kati essuubi balirengedde mu Haji Ssemakula. Bammemba b’ekibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, abamu ku baakwatira ekibiina bendera mu kulonda okwa 2021 ku mitendera egy’enjawulo mu distulikiti […]

Abasiraamu Bagabidde Abaliko Obulemu Obugaali Bw’abalema

Abasiraamu ku muzikiti gw’e Ntaawo bagabidde abantu abaliko obulemu obugaali bw’abalema busatu okubayambako ku kizibu ky’entambula. Monica Rwaheeru nga y’asakidde abalema obugaali buno asabye Abasiraamu ne Bannayuganda okwewala okuyisa mu balema amaaso ng’agamba nti bano okufuuka kye bali tebalina musango gwe bazza nti kati bsasula kibonerezo. Bano obugaali bwabakwasiddwa mu kusaala Juma ku muzikiti gwa […]

Akavuyo mu Kusaala Iddi e Mukono-Abasiraamu Beekandazze

Okusaala Iddi e Mukono ku muzikiti omukulu ogwa Mukono Central Mosque kabuze kata kuyiike, Abasiraamu bwe bavudde mu mbeera ne beekandagga nga bawakanya abakulembeze okulemererwa okukulemberamu okusaala nga bakafudde kadaala ka byabufuzi. Okusaala kuno okwabadde kutegekeddwa ku ssaawa ssatu ez’okumakya, zibadde zoolekera ssaawa nnya nga tekunnatandika ng’abakulembeze basimbizza layini bannabyabufuzi n’abagenyi abalala abalindiridde okwogera kino […]

error: Content is protected !!