Hajji Ssemakula, nga mu kiseera kye kimu ye ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono omulonde akubidde Sheikh Mubajje omulanga ataase Obusiraamu okuswala, n’agamba nti ebigambo bingi ebyogeddwa ku ye nga Mufti wa Uganda ssaako Obusiraamu okuyita ku mikutu emigatta bantu.
Kitalo! Omusajja Afumise Omusuubuzi N’amutta Lwa Kumubanja Ssente Obukadde 18 ze Yamuwola

Ssentebe w’Abasiraamu mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Haruna Ssemakula asabye Pulezidenti w’eggwanga, Gen. Yoweri Kaguta Museveni okuyingira mu nsonga z’obukulembeze bw’Abasiraamu, ayogereze Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramathan Mubajje aweeyo entebe y’obwa Mufti mu mirembe ng’Abasiraamu bwe baagala.
Bino bibadde mu bubaka bwe obwa Iddi Adhuha oluvanyuma lw’okusaala Iddi mu muzikiti omukulu ogwa Mukono, ng’okusaala kukulembeddwamu Imam w’omuzikiti Sheikh Abdul Majid Ssenyonjo.
Hajji Ssemakula, nga mu kiseera kye kimu ye ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono omulonde akubidde Sheikh Mubajje omulanga ataase Obusiraamu okuswala, n’agamba nti ebigambo bingi ebyogeddwa ku ye nga Mufti wa Uganda ssaako Obusiraamu okuyita ku mikutu emigatta bantu.

Ssemakula akubidde abakulembeze b’Obusiraamu omulanga basse ekitiibwa mu be bakulembera nga bo bwe bakibassaamu.
Mu ngeri y’emu, ono asabye Mubajje awulirize okuyaayaana kw’Abayisiraamu ave mu ntebe nti kubanga amazeeko ekiseera ekigere mu mateeka, omuli n’okuba nti yatuusa emyaka 70 egiragiddwa mu mateeka g’Obusiraamu n’agattako nti ng’omuntu omuyigirize era omugunjufu, kimugwanidde okussa ekitiibwa mu sharia.
Ye Disitulikiti Kadhi wa Mukono, Sheikh Abbas Zubair Ssenkuba Ssonko asabye abakulembeze b’eby’obufuzi beewale ebikolwa ebitabulatabula abalonzi wamu n’okukijjanya abo bwe batakkiriziganya mu ndowooza za bya bufuzi oluusi ne babatuusa ne ku bulema, n’asaba Bannayuganda basigale bumu wadde nga tebalina ndowooza zikwatagana mu bya bufuzi.
Sheikh Ssenkuba aleese ekirowoozo gavumenti erekeere awo okutiitiibya abaana ng’ewoza okubawa eddembe lyabwe.
Mu kubuulira kwe, Imam w’omuzikiti Sheikh Abdul Majid Ssenyonjo akubirizza Abayisiraamu okwekebera balabe enkwatagana yaabwe ne Allah, era bakakase nga batambula bulungi ng’amateeka ga Quran entukuvu bwe galagira omuli n’okutoola zakat, okuwoowa bakyala baabwe n’ebiragiro ebirala ebya Quran entukuvu.
Sheikh Ssenyonjo abawadde amagezi okwenenya ebibi byabwe eri Allah, n’abajjukiza nti tomanya eno yandiba enkomerero yaabwe, nga kibakakatako okwebaza Allah olw’ebirungi by’abawadde mu bulamu.
