“Kirabo ddokita era mu kiseera ng’awoza ava waka, yasoma n’amala, aliko obulamu bw’abantu bangi bwe yataasa. Ku myaka emito 32 gyokka gy’alina, eggwanga limulinamu nnyo essuubi naddala nga bwe kimanyiddwa nti eggwanga lirina ebbula lya baddokita nga ye. Nsaba kkooti ensonga eyo egitunulemu emuwe ekibonerezo ekisaamusaamu,” Kunya munnamateeka wa Kirabo bwe yategeezezza kkooti. Dr Mathew […]