Minisita omubeezi ow’eby’ettaka, Sam Mayanja yalozezza ku bukambwe bw’abantu e Mukono mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe bwe yakutte akazindaalo n’amala ebbanga erisoba mu ssaawa ng’ali ku Kabaka ajolonga. Minisita yategeezezza nti Kabaka talina ttaka mbu kkampuni ye eya Buganda Land Board nayo teri mu mateeka kukola ku ttaka ng’era ebigambibwa nti waliwo ettaka lya […]