Blick Ssemwanga omuyizi ku St. Andrews Secondary and Vocational School e Nakisunga mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono yayise ebya S4 era yeesunga kusoma kufuuka ddokita. Ssemwanga mutabani wa Florence Nantongo akolera mu katale ka Kame Valley e Mukono ng’atunda bikozesebwa mu kusoma ne Kennedy Kiganda ab’e Nabuti mu munisipaali y’e Mukono. Yafunye […]
| MUKONO | KYAGGWE TV | Ensimbi obukadde bubiri ze zaakwasiddwa abakulembeze b’abakyala b’akatale ka Kame Valley e Mukono okusobola okubayambako okwekulaakulanya. Ng’abakwasa ensimbi zino, RDC w’e Mukono, Hajjati Fatuma Ndisaba Nabitaka yategeezezza nti zino zaabaweereddwa Minisita atwala ensonga z’amaka g’obwa pulezidenti, Milly Babirye Babalanda nga yazibasuubiza gye buvuddeko bwe baakola omukolo ne bamuyita ng’omugenyi […]
Kkooti e Mukono egaanye okukkiriza okusaba kw’omusajja agambibwa okubba ssente za SACCO y’abasuubuzi e Mukono ezisoba mu bukadde 800. Samuel Omazare nga ye yali akulira UPENDO Market Vendors Multipurpose SACCO eyali ekakkalabiza emirimu mu katale ka Kame Valley Market e Mukono y’awerennemba n’omusango gw’okubba ssente z’abasuubuzi ze baali baterekedde omwaka mulamba n’okusoba. Omazare yasimbiddwa mu […]